»Okwaza kwa muwogo1«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=sqi1Vli3Tco

Ebbanga: 

00:05:03

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Peter Peters
»«

Muwogo tayala nnyo , naye okumwaza kiyamba okwongera ku muwendo gwe n‘amakungula ga muwogo okutwaliza awamu.

Okwaza kwe kwongera ku bungi bw‘emiti gya muwogo egisimbibwa okusinga ku egyo egisimbiddwa. Okwaza mu muwogo kwe kutema emiti gya muwogo. Emiti gya muwogo gy‘emiti emitonotono nga buli gumu gulina eriiso limu oba okusingawo okusinziira ku muti gwe gitemeddwa. Mu kutema, ebikozesebwa ebyogi birina okukozesebwa era muno mulimu omusumeeni, cutlas, shear, chainsaw, handsaw oba secateur.

Emiti gya muwogo emiteme

Endu ya muwogo egabanyizibwamu ebitundu bisatu kwe kugamba ekyawansi ekikaluba, ekyawakati n‘ekyawaggulu. Ebisaliddwa eby‘omuti ogukaluba birina okuba n‘eriiso limu oba abiri, ago agava ku kitundu kya wakati galiba okuba lwakiri n‘obuwanvu bwa fuuti ate ku kya waggulu, salako ebikoola byonna naye faayo nnyo obutakosa maaso era emitunsi giteerewo mu mazzi okugyewaza okufiirwa amazzi.

Obungi bw‘emiti okuva ku ndu emu businziira ku buwanvu bw‘eriiso, obugazi bw‘endu, obukulu bwa muwogo n‘embeera y‘obudde mu kusimba n‘oluvannyuma lw‘okusimba. Emiti 60 ku 100 gye gisobola okufunibwa ku ndu emu.

Okujjanjaba endu

Nga tonnasimba, jjanjaba emiti gya muwogo egitemeddwa n‘eddagala eritta ebiwuka. Kino kikole ng‘onnyika emiti egyo mu ddagala era ogireke gikalemu nga tonnagisimba.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:47Muwogo tayala nnyo nga kasooli.
00:4800:55Okwaza emiti gya muwogo kiyamba okwongera ku makungula ga muwogo.
005601:35Okwaza mu muwogo kwe kutema emiti gya muwogo.
01:3602:02Mu kutema, ebikozesebwa ebyogi birina okukozesebwa.
02:0303:24Ebisaliddwa ku miti egikaluba biba n‘amaaso abiri, eby‘omuti gwa wakati nga bya buwanvu bwa fuuti n‘ebikoola ne bisalibwa ku kitundu kya waggulu.
03:2503:45Obungi bw‘emiti okuva ku ndu emu businziira ku buwanvu bw‘eriiso, obugazi bw‘endu, obukulu bwa muwogo n‘embeera y‘obudde.
03:4604:57Nga tonnasimba, jjanjaba emiti gya muwogo egitemeddwa n‘eddagala eritta ebiwuka.
04:5805:03Okusiima.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *