»Okukola emmere y‘embuzi eyitibwa “Silage“«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=k_brBkEckVE

Ebbanga: 

00:07:14

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AgVid
»Wanula app ya FarmTV okulaba enteekateeka za Shramajeevi TV«

Emmere eyitibwa Silage ye emmere y‘ebisolo esinga obulungi ku mbuzi, ekolebwa amangu mu kasooli owa kyenvu n‘omuddo omulala omulongooseemu wabula, empewo bw‘eyingira mu mmere eyo eyonooneka mangu. Nga oyita mu mitendera emituufu, silage ow‘omulembe asobola okuteekebwateekebwa.

Silage awangaala okuva ku nnaku kkumi na ttaano okuva lw‘omuteeka mu kinnya okutuuka ku myaka ebiri, wabula bulijjo weekwate enkozesa ya silage okwongera ku kubeerawo kw‘ebiriisa ku lw‘okwongera ku kukula kw‘embuzi. Tangira enkuba, amazzi g‘ebitaba, emmese okuyingira mu silage anti bino biyinza okukendeeza omutindo gw‘emmere era okuume oluzzizzi nga luli ku bitundu nkaaga ku nkaaga mu bitaano ku buli kikumi okwongera ku buweweevu bw‘ebyo ebiri mu silage.

Emitendera egigobererwa

Sooka olime kasooli owa kyenvu omukungule n‘ekibala oluvannyuma lw‘ennaku kinaana mu ttaano, sima ebinnya nga buli ludda lukka wansi ozimbe amayinja wansi mu ntobo ne ku bisenge okutangira emmese, teeka akaveera ku bisenge by‘ekinnya okukuuma obuweweevu n‘okuziyiza okuyingira kw‘empewo n‘amazzi okuva lwe kiri nti bino byonoona mangu silage. Era temaatema omuddo ogukaze mu buwanvu obwenkanankana okusobola okwanguyiza okugupakira, okugutereka awamu n‘ensolo okugulya. Kikubirizibwa okutabula awamu n‘ebimera ebirina empeke ezaawulwamu ebitundu bibiri okwongera ku muwendo gw‘ekiriisa ekiri mu silage.

Oluvannyuma lw‘ekyo tabula kkiro abiri ez‘akaloddo mu liita kikumi mu ataano ez‘amazzi ne ggulaamu bibiri mu ataano ez‘obuwuka bwa silage obusirikitu era omamirire ku muddo omutemeeteme okwanguyiza okukubwa kw‘omuddo ogwo mu lubuto lw‘ensolo mu ngeri ey‘omutindo. olwo gatta kkiro emu ey‘omunnyo ogwa bulijjo mu buli ttani y‘omuddo okwongera ku buwoomi era okujjuza omuddo mu kinnya kulina kukolebwa mu lunaku lumu. Oluvannyuma kungula era oteme ebimera n‘ebisooli byakwo ku lw‘obulamu obulungi obw‘ensolo wamu n‘okwepena okukozesa ebirungo ebitabulwa mu mmere.

Mu kumaliriza kozesa ebigimusa ebikoleddwa mu bintu by‘obutonde, ebiriisa eby‘omuttaka n‘ennima ey‘okukyusakyusa mu birime by‘olima ku ttaka lyerimu, nga kasooli owa kyenvu bw‘atayinza kumera mu nkuba ennyingi ne ku ttaka eritali ggimu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:22Okukola emmere ey‘ekika kya Silage ey‘embuzi
00:2300:43lima kasooli owa kyenvu, oluvannyuma lw‘ennaku kinaana mu ttaano kungulira wamu ne kasooli abaze, sima ebinnya nga buli ludda lukka munda era ozimbeko amayinja mu ntobo n‘erudda n‘erudda.
00:4401:17Teeka akaveera ku bisenga by‘ekinnya, temaatema omuddo mu buwanvu obwenkanankana era ogusse mu kinnya.
01:1801:29Gattamu ebimera ebirina empeke ezisobola okwawulwamu ebitundu bibiri, tabula kkiro makumi abiri ez‘akaloddo mu liita kikumi mu ataano ez‘amazzi.
01:3002:34Tabulamu ggulaamu bibiri mu ataano ez‘obuwuka obusirikitu obukozesebwa mu kukola silage mu liita kkumi na ttaano ez‘amazzi.
02:3502:51Gattamu kkiro emu ey‘omunnyu ogwa bulijjo mu buli ttani emu ey‘omuddo gw‘ensolo, yiwa era ojjuze ekinnya mu lunaku lumu.
02:5203:09Linnya waggulu ku muddo era gusibire wamu mu kaveera nga ogunywerezza ddala.
03:1003:27Ziyiza enkuba, amazzi g‘ebitaba n‘emmese, ennaku kumi na ttaano oluvannyuma lw‘ennaku kkumi na ttaano okuva lwe wajjuza emmere eyo mu kinnya, silage akolebwa era awangaala okumala emyaka ebiri.
03:2804:09Obuwanvu okusalirwa, okulinnyirira, obuzito obuli waggulu bukosa omutindo, ffuuti emu ey‘ekinnya ebeeramu kkiro kkumi na bbiri ku kkumi na ttaano eza silage.
04:1004:45Tobikkula kinnya kya silage kyonna era bulijjo kibikke nga omaze. Omuwenba nagwo gusobola okukolebwamu silage.
04:4605:37Kungula era otemeeteme omuddo ne kasooli osaliremu ne kasooli abaze weeyambise enkola ya silage.
05:3805:49Embuzi enkulu zeetaaga ttani emu okutuuka ku ttani emu n‘ekitundu eya silage buli mwaka.
05:5005:58Kozesa ebigimusa ebirimu obuwuka obusirikitu obubeera mu bigimusa ebivudde mu bintu by‘obutonde okugimusa ettaka n‘okukyusakyusa ebirime ebirimwa ku ttaka lyerimu.
05:5906:52Kuuma oluzzizzi lwa bitundu nkaaga ku nkaaga mu bitaano ku buli kikumi era okozese omuddo omulala omulongooseemu okukola silage.
06:5307:14Silage akendeeza ku ssente ezisaasaanyizibwa ku kutambuza emmere y‘ebisolo n‘abakozi abeetaagisa.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *