Emmere eyitibwa Silage ye emmere y‘ebisolo esinga obulungi ku mbuzi, ekolebwa amangu mu kasooli owa kyenvu n‘omuddo omulala omulongooseemu wabula, empewo bw‘eyingira mu mmere eyo eyonooneka mangu. Nga oyita mu mitendera emituufu, silage ow‘omulembe asobola okuteekebwateekebwa.
Silage awangaala okuva ku nnaku kkumi na ttaano okuva lw‘omuteeka mu kinnya okutuuka ku myaka ebiri, wabula bulijjo weekwate enkozesa ya silage okwongera ku kubeerawo kw‘ebiriisa ku lw‘okwongera ku kukula kw‘embuzi. Tangira enkuba, amazzi g‘ebitaba, emmese okuyingira mu silage anti bino biyinza okukendeeza omutindo gw‘emmere era okuume oluzzizzi nga luli ku bitundu nkaaga ku nkaaga mu bitaano ku buli kikumi okwongera ku buweweevu bw‘ebyo ebiri mu silage.
Emitendera egigobererwa
Sooka olime kasooli owa kyenvu omukungule n‘ekibala oluvannyuma lw‘ennaku kinaana mu ttaano, sima ebinnya nga buli ludda lukka wansi ozimbe amayinja wansi mu ntobo ne ku bisenge okutangira emmese, teeka akaveera ku bisenge by‘ekinnya okukuuma obuweweevu n‘okuziyiza okuyingira kw‘empewo n‘amazzi okuva lwe kiri nti bino byonoona mangu silage. Era temaatema omuddo ogukaze mu buwanvu obwenkanankana okusobola okwanguyiza okugupakira, okugutereka awamu n‘ensolo okugulya. Kikubirizibwa okutabula awamu n‘ebimera ebirina empeke ezaawulwamu ebitundu bibiri okwongera ku muwendo gw‘ekiriisa ekiri mu silage.
Oluvannyuma lw‘ekyo tabula kkiro abiri ez‘akaloddo mu liita kikumi mu ataano ez‘amazzi ne ggulaamu bibiri mu ataano ez‘obuwuka bwa silage obusirikitu era omamirire ku muddo omutemeeteme okwanguyiza okukubwa kw‘omuddo ogwo mu lubuto lw‘ensolo mu ngeri ey‘omutindo. olwo gatta kkiro emu ey‘omunnyo ogwa bulijjo mu buli ttani y‘omuddo okwongera ku buwoomi era okujjuza omuddo mu kinnya kulina kukolebwa mu lunaku lumu. Oluvannyuma kungula era oteme ebimera n‘ebisooli byakwo ku lw‘obulamu obulungi obw‘ensolo wamu n‘okwepena okukozesa ebirungo ebitabulwa mu mmere.
Mu kumaliriza kozesa ebigimusa ebikoleddwa mu bintu by‘obutonde, ebiriisa eby‘omuttaka n‘ennima ey‘okukyusakyusa mu birime by‘olima ku ttaka lyerimu, nga kasooli owa kyenvu bw‘atayinza kumera mu nkuba ennyingi ne ku ttaka eritali ggimu.