»Okuzaliisa ente z‘amata«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=yo5DIxkHV1s

Ebbanga: 

00:10:46

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Digital Agriculture
Related videos
»Kano akatambi kalimu emitendera egigobererwa mu kuzaliisa ente, omutendera I, II &III, obuyambi webawo ekiganye, endabirira y‘akayana okugez okugyamu eminyira mu nyindo, okuyonja akayana, okusiba ekundi, okupima obuzito, okunyweza amata agasooka, n‘okwawula ebiyumba. «

Ente zitera okuzaala nga wayiise emyezi 9 egy‘egwako wabula waliwo ebirina okukolebwa mu lugendo luno nga abalunzi balina okubiteka mu nkola.

Nolwekyo kikulu nnyo okuleeta ente eri eggwako awantu awatasereza buyana nga wabula wiiki bbiri okuzaala wabula, wezizalira walina okuyonjebwa nokufuyira obuwuuka okutta bwona obuyinza okeleeta obulwadde. Era kikubirizibwa obutatawanya nte nga ezaala okugyako nga obuyambi bwetagisiza kuba kino kiyinza okulemes ente okuzaala obulungi mu mbeera eya bulijjo.

Ebyetaaga okukolebwa

Nga emaze okuzaala leeka ente ezadde ekombe akaana kayo okwanguya entabula y‘omusaayi.

Era mangu ddala enyindo n‘amatu bigyemu eminyira okwewala okuzibikira wamu nokwanguyiza akayana okussa era akayana akakazalibwa okayonje n‘olugoye oluyonjo n‘ebisubi ebitemeteme okukakaza.

Okwongerako, ekundi lisibe 2.5cm okuva ku lubuto era 1cm okuva wosibidde osalireko awo ekirira, olumala onyike wosalide ekkundi mu ddagala eritta obuwuka okwewala okufuan obulwadde.

Okwongerako akayana akazalidwa kappime okumanya obuzito bwekazirwaddwako era okawe amata agasooka okuva mu bbere okufuna ebirungo n‘obokumi bw‘omubiri.

Kakasa nti oyawula obuyana obuzaliddwa ku ba maama babwo era obulabirire ekimala okwewala obutafa.

Era bwewabo obuzibu mu kuzaala leeta omusawo w‘ebisolo era n‘ekisembayo kozesa emikono ogyeyo nabaana bweba egaanye okugwa yoka mu saawa 8.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:10Ente eri eggwako gireete awantu awatasereza buyana nga wabula wiiki bbiri okuzaala, yonja era ofuyire ekiralo.
01:1102:41Totatawanya nte nga ezaala okugyako nga obuyambi bwetagisiza
02:4203:25Nga emaze okuzaala leeka ente ezadde ekombe akaana kayo
03:2603:55Mangu ddala enyindo n‘amatu bigyemu eminyira
03:5605:30Akayana akakazalibwa okayonje n‘olugoye oluyonjo n‘ebisubi ebitemeteme okukakaza.
05:3106:33Ekundi lisibe 2.5cm okuva ku lubuto era 1cm okuva wosibidde osalireko awo ekirira
06:3406:56Onyike wosalide ekkundi mu ddagala eritta obuwuka.
06:5708:15Akayana kampime era okawe amata agaooka okuva mu bbere mu saawa emu nga kakazalibwa
08:1608:32Obwana obuzalidwa bwauule era obulabirire bulungi.
08:3309:38Funa obukugu kuby‘ebisolo singa wabawo obuzibu mukuzaala.
09:3910:46Nabaana gigyeyo n‘emikono bweba eganye okugwa mu saawa .

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *