Ente zitera okuzaala nga wayiise emyezi 9 egy‘egwako wabula waliwo ebirina okukolebwa mu lugendo luno nga abalunzi balina okubiteka mu nkola.
Nolwekyo kikulu nnyo okuleeta ente eri eggwako awantu awatasereza buyana nga wabula wiiki bbiri okuzaala wabula, wezizalira walina okuyonjebwa nokufuyira obuwuuka okutta bwona obuyinza okeleeta obulwadde. Era kikubirizibwa obutatawanya nte nga ezaala okugyako nga obuyambi bwetagisiza kuba kino kiyinza okulemes ente okuzaala obulungi mu mbeera eya bulijjo.
Ebyetaaga okukolebwa
Nga emaze okuzaala leeka ente ezadde ekombe akaana kayo okwanguya entabula y‘omusaayi.
Era mangu ddala enyindo n‘amatu bigyemu eminyira okwewala okuzibikira wamu nokwanguyiza akayana okussa era akayana akakazalibwa okayonje n‘olugoye oluyonjo n‘ebisubi ebitemeteme okukakaza.
Okwongerako, ekundi lisibe 2.5cm okuva ku lubuto era 1cm okuva wosibidde osalireko awo ekirira, olumala onyike wosalide ekkundi mu ddagala eritta obuwuka okwewala okufuan obulwadde.
Okwongerako akayana akazalidwa kappime okumanya obuzito bwekazirwaddwako era okawe amata agasooka okuva mu bbere okufuna ebirungo n‘obokumi bw‘omubiri.
Kakasa nti oyawula obuyana obuzaliddwa ku ba maama babwo era obulabirire ekimala okwewala obutafa.
Era bwewabo obuzibu mu kuzaala leeta omusawo w‘ebisolo era n‘ekisembayo kozesa emikono ogyeyo nabaana bweba egaanye okugwa yoka mu saawa 8.