Olw‘okubeera ekiva mu nte ekirina ekiriisa eky‘amaanyi, omutindo gw‘amata n‘obungi bwago biva ku nkama, endiisa n‘obulamu bw‘ensolo.
Ebbanyi bwe bulwadde obukwata ekivaamu amata, ekibeere. Obuwuka bulumba ennywanto okuyita mu misuwa gy‘ennywanto ne buleeta obulwadde. Ebbanyi kwe kulwanagana wakati w‘obuwuka obulumbye ekibeere n‘ente erwanyisa obulwadde.
Okwetegekera okukama
Nga bwe kiri eky‘omugaso ennyo obutatambuza buwuka obuleeta ebbanyi erikwata amangu okuva ku nte emu okudda ku ndala nga okozesa emikono oba akagoye, abakama balina okunaaba era bakaze engalo zaabwe nga tebannakama, era banaabe era bakaze engalo zaabwe nga bava ku nte emu okudda ku ndala. Yambala ggiraavuzi ennyangu z‘okulongoosa.
Okufaanaganako n‘ekyo, obulamu bw‘omuntu akama nakyo kya mugaso okukifaako nga bw‘alina okubeera omulamu obulungi, omuyonjo n‘enjala ensale awamu n‘engoye ezitukula. Bano balina okussaayo ennyo omwoyo ku kukama era talina kufuuweeta ssigala, talina kuwanda oba okukolola nga akama.
Ente erina okukamwa era n‘emalirizibwa mu bwangu era bulijjo kyandisinzeeko nga omuntu omu y‘akamye ente n‘agimaliriza. Obuyonjo obulungi obw‘engalo n‘okwewala olususu lw‘ennywanto n‘olw‘engalo obutabeera lukalu kintu kya mugaso. Okukozesa eddagala ly‘omuzigo erisiigibwa ku ngalo n‘ennywanto kikuuma olususu lw‘ennywanto nga lulamu era nga lulina obuwuka butono ddala.
Okwongerezaako, ekibeere kirina okulongoosebwa nga tonnakama okuggyako obukyafu obuyinza okwonoona amata. Kino nakyo kyandireetera ente okuleeta amangu amata. Oyinza okukozesa okunnyika nga tonnakama oba okukozesa ensonda nnya ez‘akagoye akabisi okuyonja obutundu obuna obw‘ekibeere, era bino tebirina kuddizibwa mu kalobo. Akagoye akakalu oba ekipapula kye ekirina okukozesebwa okukaza ennywanto nga tonnakama, okwewala amatondo ku nnywanto agayinza okuggweera mu mata ne kireeta ebbanyi era ne kikendeeza obulamu bw‘amata nga gaterekeddwa.
N‘ekisembayo, walina okubaawo obugoye bwa langi bbiri oba obulambiddwa obwa buli nte, mu ekyo nti akamu ka kwoza akalala ka kukaza. Obugoye bubiri bwe bwetaagisa mu buli lukama, bulina okwozebwa n‘okukazibwa nga ova ku nte emu okudda ku ndala.