»Ekikolwa II mu kukama obulungi – Okwetegekera okukama«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=gc7vtWH_ybA

Ebbanga: 

00:03:38

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Interactive Content – The University of Edinburgh
»«

Olw‘okubeera ekiva mu nte ekirina ekiriisa eky‘amaanyi, omutindo gw‘amata n‘obungi bwago biva ku nkama, endiisa n‘obulamu bw‘ensolo.

Ebbanyi bwe bulwadde obukwata ekivaamu amata, ekibeere. Obuwuka bulumba ennywanto okuyita mu misuwa gy‘ennywanto ne buleeta obulwadde. Ebbanyi kwe kulwanagana wakati w‘obuwuka obulumbye ekibeere n‘ente erwanyisa obulwadde.

Okwetegekera okukama

Nga bwe kiri eky‘omugaso ennyo obutatambuza buwuka obuleeta ebbanyi erikwata amangu okuva ku nte emu okudda ku ndala nga okozesa emikono oba akagoye, abakama balina okunaaba era bakaze engalo zaabwe nga tebannakama, era banaabe era bakaze engalo zaabwe nga bava ku nte emu okudda ku ndala. Yambala ggiraavuzi ennyangu z‘okulongoosa.

Okufaanaganako n‘ekyo, obulamu bw‘omuntu akama nakyo kya mugaso okukifaako nga bw‘alina okubeera omulamu obulungi, omuyonjo n‘enjala ensale awamu n‘engoye ezitukula. Bano balina okussaayo ennyo omwoyo ku kukama era talina kufuuweeta ssigala, talina kuwanda oba okukolola nga akama.

Ente erina okukamwa era n‘emalirizibwa mu bwangu era bulijjo kyandisinzeeko nga omuntu omu y‘akamye ente n‘agimaliriza. Obuyonjo obulungi obw‘engalo n‘okwewala olususu lw‘ennywanto n‘olw‘engalo obutabeera lukalu kintu kya mugaso. Okukozesa eddagala ly‘omuzigo erisiigibwa ku ngalo n‘ennywanto kikuuma olususu lw‘ennywanto nga lulamu era nga lulina obuwuka butono ddala.

Okwongerezaako, ekibeere kirina okulongoosebwa nga tonnakama okuggyako obukyafu obuyinza okwonoona amata. Kino nakyo kyandireetera ente okuleeta amangu amata. Oyinza okukozesa okunnyika nga tonnakama oba okukozesa ensonda nnya ez‘akagoye akabisi okuyonja obutundu obuna obw‘ekibeere, era bino tebirina kuddizibwa mu kalobo. Akagoye akakalu oba ekipapula kye ekirina okukozesebwa okukaza ennywanto nga tonnakama, okwewala amatondo ku nnywanto agayinza okuggweera mu mata ne kireeta ebbanyi era ne kikendeeza obulamu bw‘amata nga gaterekeddwa.

N‘ekisembayo, walina okubaawo obugoye bwa langi bbiri oba obulambiddwa obwa buli nte, mu ekyo nti akamu ka kwoza akalala ka kukaza. Obugoye bubiri bwe bwetaagisa mu buli lukama, bulina okwozebwa n‘okukazibwa nga ova ku nte emu okudda ku ndala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:19Ebbanyi bwe bulwadde bw‘ekitundu ky‘omubiri ekireeta amata, ekibeere.
00:2000:25Obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde bulumba obusongezo bw‘ennywanto nga buyita mu misuwa gy‘ennywanto ne buleeta endwadde.
00:2600:38Ebbanyi kulwanagana wakati w‘obuwuka obusirikitu obulumba ekibeere n‘ente erwanyisa obulwadde.
00:3900:52Kya mugaso obutatambuza buwuka obuleeta obulwadde bw‘ebbanyi obukwata amangu okuva ku nte emu okudda ku ndala nga okozesa engalo oba engoye.
00:5301:03Abakama ensolo balina okunaaba engalo era ne bazikaza nga tebannakama era banaabe era bakaze engalo zaabwe nga bavudde ku nte emu okudda ku ndala.
01:0401:09Yambala ggiraavuzi ennyangu ez‘okulongoosa.
01:1001:23Akama alina okubeera omulamu, nga muyonjo n‘enjala ensale n‘engoye ezitukula.
01:2401:26Abakama balina okussa ennyo omwoyo ku mulimu nga bakama.
01:2701:32Abakama tebalina kunywa ssigala, tebalina kuwanda oba okukolola nga bakama.
01:3301:50Ente erina okukamirwa ddala ate mu bwangu era okusingira ddala nga ekamiddwa omuntu yoomu.
01:5102:09Kuuma obuyonjo bw‘engalo era weewale olususu olukalu ennyo ku nnywanto n‘engalo.
02:1002:23Ekibeere kirina okulongoosebwa nga okukama tekunnakolebwa.
02:2402:31Kozesa okunnyika nga tonnakama oba okukozesa ensonda nnya ez‘akagoye akabisi okulongoosa obutundu obuna obw‘ekibeere.
02:3202:42Akagoye tekalina kuzzibwa mu kalobo.
02:4303:12Kozesa akagoye akakalu oba ekipapula okukaza ennywanto nga tonnakama.
03:1303:29Kozesa obugoye obw‘enjawulo buli lw‘okama ente.
03:3003:38Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *