Eby‘obulamu by‘ensolo bisalawo nnyo kumutindo n‘obungi bw‘ebiva munsolo era kino kikosa obulunzi.
Okusiba ensolo nga tonaba kugikuba ddagala kirungi eri eby‘okw‘erinda, obukuumi bw‘omuntu nabwo, n‘okubeera kw‘ensolo okulungi. Oddamu okufuuyira bwekuba kw‘etaagibwa, kebera ebiragiro n‘ebiseera ebiwandiikidwa.
Enkuba ye ddagala
Sooka osibe ensolo era ofune ekifo aw‘okukuba empiso newankubade nga kubulago w‘ewasiiga okubeera awasaanide okukuba okumpi n‘ekibegabega. Kakasa nti wewala obutatw‘aliramu jugular vein ne suprascapular lymph node.
Mungeri y‘emu nyeenya mpola mpola ecupa okusobozesa eddagala okw‘etabula obulungi era tolinyeenya nnyo kubanga kino kiyiinza okw‘onoona eddagala. Buli kiseera soma ebiwandiikidwa ku cup yeddagala okusobola okukozesa ekipimo ekimala wabula eri eddagala lya triangle, ekipimo n‘enkozesa by‘awukana kubuli kika.
Mukukozesa empiso egendamu ebika byeddagala ebisoba mu kimu, pima ekipimo ekituufu. Kozesa empiso empya elongoseddwa okusika eddagala okuva mu cupa era empiso ezikozeseddwa ku nsolo ziyinza okw‘onoona eddagala mu cupa. Londa empiso esaanidde okusinziira kungaba yeddagala eryo n‘obuzito bw‘ensolo era oluvanyuma, kwaata empiso mumukono omulala era fumita empiso wakati w‘akacupa keddagala.
Okugatako tambuza omukono nga okw‘ata empiso mumukono gumu era kozesa omukono omulala okusika ekipimo kyeddagala mu mpiso. Genda mumaaso nga ojjamu empiso mu cupa nga ogitunnuze wagulu, taako eddagala erimu okusobola okujjamu empewo yonna kulw‘ebipimo ebituufu. KaKakasa nti ekifo awakubwa empiso watukula, wakalu era nga tewaliiwo lutakataka era likube mubutuufu bw‘alyo nga bwebuwandiikiddwa.
Kumpiso ezikubwa ku ddiba, sika eddiba kubulago bw‘ensolo okufuna aw‘okukuba era fumita empiso, sindika eddagala era ojjemu empiso ote eddiba. Kulw‘empiso ezikubwa nga z‘esimbye, kwaata empiso busiimba ku ddiba, sindika empiso mu musuwa, sindika eddagala era ojjemu empiso.
Ekisembayo, Kyuusakyuusa empiso oluvanyuma lw‘ekiseera era osuule ezo eziky‘amye n‘ezoononese.