»Engeri entuufu ey‘okukubamu eddagala erigema eriyitibwa Triangle«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=1oySlS1jBVk

Ebbanga: 

00:03:35

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Boehringer Ingelheim Cattle Health
»«

Eby‘obulamu by‘ensolo bisalawo nnyo kumutindo n‘obungi bw‘ebiva munsolo era kino kikosa obulunzi.

Okusiba ensolo nga tonaba kugikuba ddagala kirungi eri eby‘okw‘erinda, obukuumi bw‘omuntu nabwo, n‘okubeera kw‘ensolo okulungi. Oddamu okufuuyira bwekuba kw‘etaagibwa, kebera ebiragiro n‘ebiseera ebiwandiikidwa.

Enkuba ye ddagala

Sooka osibe ensolo era ofune ekifo aw‘okukuba empiso newankubade nga kubulago w‘ewasiiga okubeera awasaanide okukuba okumpi n‘ekibegabega. Kakasa nti wewala obutatw‘aliramu jugular vein ne suprascapular lymph node.

Mungeri y‘emu nyeenya mpola mpola ecupa okusobozesa eddagala okw‘etabula obulungi era tolinyeenya nnyo kubanga kino kiyiinza okw‘onoona eddagala. Buli kiseera soma ebiwandiikidwa ku cup yeddagala okusobola okukozesa ekipimo ekimala wabula eri eddagala lya triangle, ekipimo n‘enkozesa by‘awukana kubuli kika.

Mukukozesa empiso egendamu ebika byeddagala ebisoba mu kimu, pima ekipimo ekituufu. Kozesa empiso empya elongoseddwa okusika eddagala okuva mu cupa era empiso ezikozeseddwa ku nsolo ziyinza okw‘onoona eddagala mu cupa. Londa empiso esaanidde okusinziira kungaba yeddagala eryo n‘obuzito bw‘ensolo era oluvanyuma, kwaata empiso mumukono omulala era fumita empiso wakati w‘akacupa keddagala.

Okugatako tambuza omukono nga okw‘ata empiso mumukono gumu era kozesa omukono omulala okusika ekipimo kyeddagala mu mpiso. Genda mumaaso nga ojjamu empiso mu cupa nga ogitunnuze wagulu, taako eddagala erimu okusobola okujjamu empewo yonna kulw‘ebipimo ebituufu. KaKakasa nti ekifo awakubwa empiso watukula, wakalu era nga tewaliiwo lutakataka era likube mubutuufu bw‘alyo nga bwebuwandiikiddwa.

Kumpiso ezikubwa ku ddiba, sika eddiba kubulago bw‘ensolo okufuna aw‘okukuba era fumita empiso, sindika eddagala era ojjemu empiso ote eddiba. Kulw‘empiso ezikubwa nga z‘esimbye, kwaata empiso busiimba ku ddiba, sindika empiso mu musuwa, sindika eddagala era ojjemu empiso.

Ekisembayo, Kyuusakyuusa empiso oluvanyuma lw‘ekiseera era osuule ezo eziky‘amye n‘ezoononese.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:12Siba ensolo nga tonaba kugikuba ddagala.
00:1300:22Tereka empiso mukintu ekinyogoga ekiziyiza omusana n‘ebugumu erissukiridde.
00:2300:45Funa ekifo aw‘okukuba empiso era wewale okukuba ku musuwa gwa era ne suprascapular lymph node.
00:4600:54Nyeenya mpola mpola ecupa okusobozesa eddagala okw‘etabula obulungi era tolinyeenya nnyo.
00:5500:58Buli kiseera soma endagiriro okusobola okugaba ebipimo ebirungi.
00:5901:03Ku ddagala lya triangle, funa ebipimo ebituufu buli lukuba.
01:0401:13Mukukozesa empiso egendamu ebika byeddagala ebisoba mu kimu, pima ekipimo ekituufu.
01:1401:18Kozesa empiso empya elongoseddwa okusika eddagala okuva mu cupa.
01:1901:24empiso ezikozeseddwa ku nsolo ziyinza okw‘onoona eddagala mu cupa.
01:2501:46Londa empiso esaanidde okusinziira kungaba yeddagala eryo n‘obuzito bw‘ensolo.
01:4701:55, kwaata empiso mumukono omulala era fumita empiso wakati w‘akacupa keddagala.
01:5602:00tambuza omukono nga okw‘ata empiso mumukono gumu.
02:0102:05Kozesa omukono ogusigadde okusika eddagala ery‘etagibwa mu mpiso.
02:0602:20jjamu empiso mu cupa nga ogitunnuze wagulu era ojjamu empewo.
02:2102:25Kakasa nti ekifo awakubwa empiso watukula, wakalu era nga tewaliiwo lutakataka.
02:2602:30Kuba eddagala mubutuufu bw‘alyo nga bwebuwandiikiddwa.
02:3102:37Kumpiso ezikubwa ku ddiba, sika eddiba kubulago bw‘ensolo okufuna aw‘okukuba.
02:3802:45Fumita empiso, era wewale okujikuba ku musuwa nga y‘esulise.
02:4602:53Sindika eddagala era ojjemu empiso ote eddiba.
02:5402:58Kulw‘empiso ezikubwa nga z‘esimbye, kwaata empiso busiimba ku ddiba.
02:5903:05Sindika empiso mu musuwa, sindika eddagala era ojjemu empiso.
03:0603:17kyuusa empiso oluvanyuma lw‘ekiseera era osuule ezo eziky‘amye n‘ezoononese.
03:1803:22Singa okuddamu okugema kuba kw‘etaagisiza, goberera endagiriro ew‘andikiddwa.
03:2303:35Obufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *