Mu bulunzi bw‘enjuki, okululeeta enjuki ku muzinga kyekimu ku bisinga obukulu okukola era engeri emu okufunamu enjuki kwekuzikwatira mu kirimba.
Nga tonatatandiika mutawana gwa kukwata kirimba kya njuki, kakasa nti olinaebikola ebyetagisa omuli akabokisi, esuuka etangaala, omuswaki gw‘enjuki, magalo, oyilo ava mu kisubi, ebyambalo ebyokwesabika n‘eddala oba akatebe. Nga ekiriomba kiri kumpi n‘ewansi, osobola okuzikwata naye bwekiba waggulu nnyo, wetaaga okukozesa akatebe oba eddaala okuzitukako.
Okukwata ekirimba ky‘enjuki
Okukwata ekirimba ky‘enjuki, yala esuuka yo ku ttaka wansi wekiri olwo otuzeeko akabokisi. Yingiza enjuki nyingi paka lwokoowa era bwaba nga nabakyala wazo tanayingira, ojja kumanya mu ddakiika ntono kubanga enjuki enkozi zigoberera nabakyala wazzo.
Nabakyala wazo bwaba tanayingira mu kabokisi, lindako enjuki ziddemu zikungane oddemu ogezeeko. Bwekiba ekirimba ky‘enjuki kiri ku tabi lya muti, linyenyenyenye okusobozesa enjuki okugwa mu kabokisi ate bweiziba ku bisubi oba akatabi akatono, koseza makanzi esalira osale ettabi ligwe mu kabokisi naye wetaaga okugyamu ebisubi bwoba enjuki ozisa mu muzinga omunene.
Ekirimba bwekiba ku lukomera oba ekisenge, oyinza okwetaaga okuzisamuliza amazzi okwewala okubuuka ate bwekiba ku ttaka, siiga oyilo ava mu kisubi mu kabokisi olwo okakomyewo enjuki zisobole okuyingiramu.
Okuyingiza enjuki mu muzinga
Nga omaze okukwata enjuki ezisinga obungi, akabokisi kabikeko wabula olekewo akatuli enjuki enkuumi weneyita okuyingira nga ekomyewo. Nga wayisewo ekiro, ebokisi gibikekoera ogisibeko solotepu olwo ozitwale nobwegendereza obusoboka.
Okuyingiza enjuki mu muzinga gwenyini, ziyiwe mu muzinga obikeko obudinda olwo ozeeko ekisanikira kyakwo.
Abalunzi b‘enjuki basobola okukolesa oyilo w‘ekisubi okusikiriza enjuki era akabokisi mwezikawtirwa kalina okuba fuuti 6 okuva wansi.