»Engeri yokukwata nokuyingiza enjuki mu mizinga«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=gihM9T7QQLk

Ebbanga: 

00:06:40

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Bee Built
»Yiga engeri yokukwata nokuyingiza enjuki mu muzinga! Okuva kubyolina okukozesa byewetaaga okuyingiza nabakyala, olutambi luno lubiraga byona.«

Mu bulunzi bw‘enjuki, okululeeta enjuki ku muzinga kyekimu ku bisinga obukulu okukola era engeri emu okufunamu enjuki kwekuzikwatira mu kirimba.

Nga tonatatandiika mutawana gwa kukwata kirimba kya njuki, kakasa nti olinaebikola ebyetagisa omuli akabokisi, esuuka etangaala, omuswaki gw‘enjuki, magalo, oyilo ava mu kisubi, ebyambalo ebyokwesabika n‘eddala oba akatebe. Nga ekiriomba kiri kumpi n‘ewansi, osobola okuzikwata naye bwekiba waggulu nnyo, wetaaga okukozesa akatebe oba eddaala okuzitukako.

Okukwata ekirimba ky‘enjuki

Okukwata ekirimba ky‘enjuki, yala esuuka yo ku ttaka wansi wekiri olwo otuzeeko akabokisi. Yingiza enjuki nyingi paka lwokoowa era bwaba nga nabakyala wazo tanayingira, ojja kumanya mu ddakiika ntono kubanga enjuki enkozi zigoberera nabakyala wazzo.

Nabakyala wazo bwaba tanayingira mu kabokisi, lindako enjuki ziddemu zikungane oddemu ogezeeko. Bwekiba ekirimba ky‘enjuki kiri ku tabi lya muti, linyenyenyenye okusobozesa enjuki okugwa mu kabokisi ate bweiziba ku bisubi oba akatabi akatono, koseza makanzi esalira osale ettabi ligwe mu kabokisi naye wetaaga okugyamu ebisubi bwoba enjuki ozisa mu muzinga omunene.

Ekirimba bwekiba ku lukomera oba ekisenge, oyinza okwetaaga okuzisamuliza amazzi okwewala okubuuka ate bwekiba ku ttaka, siiga oyilo ava mu kisubi mu kabokisi olwo okakomyewo enjuki zisobole okuyingiramu.

Okuyingiza enjuki mu muzinga

Nga omaze okukwata enjuki ezisinga obungi, akabokisi kabikeko wabula olekewo akatuli enjuki enkuumi weneyita okuyingira nga ekomyewo. Nga wayisewo ekiro, ebokisi gibikekoera ogisibeko solotepu olwo ozitwale nobwegendereza obusoboka.

Okuyingiza enjuki mu muzinga gwenyini, ziyiwe mu muzinga obikeko obudinda olwo ozeeko ekisanikira kyakwo.

Abalunzi b‘enjuki basobola okukolesa oyilo w‘ekisubi okusikiriza enjuki era akabokisi mwezikawtirwa kalina okuba fuuti 6 okuva wansi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:02Okwata ekirimba ky‘enjuki, kakasa nti olina ebikola ebyetagisa.
01:0301:30Yala esuuka yo ku ttaka wansi wekirimba olwo otuzeeko akabokisi.
01:3101:55Enjuki ezisinga ziyingize mu kabokisi.
01:5602:00Nabakyala bwaba tayingidde, ddamu ogezeeko nga zimaze okuddamu okukungana.
02:0102:28Bwekiba ekirimba ky‘enjuki kiri ku tabi lya muti, linyenyenyenye okusobozesa enjuki okugwa mu kabokisi
02:2902:43Ekirimba bwekiba ku lukomera oba ekisenge, zisamuliza amazzi.
02:4403:02Bwekiba ku ttaka, kozesa oyilo ava mu kisubi.
03:0303:34Akabokisi kabikeko bwoba omaze okukwata enjuki ezisinga.
03:3503:50Ebokisi gitambuze kiro nobwegenderza obumala.
03:5104:55Enjuki zisengule ozize mu muzinga.
04:5606:14Oyilo w‘ekisubi asobola okukozesebwa okusika enjuki era obubokisis obukwata enjuki bulina okubeera wakiri fuuti 6 okuva wansi.
06:1506:40Okumaliriza

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *