Okulima obutungulu nga obujja mu nsigo kyetaaga ebirowoozo byona. Nga obusigo obutono bumeruse, endokwa entono zirina okukumibwa okuva eri omusana wamu n’enkuba namutikwa.
Beedi ekusobozesa okuzifukirira wamu nokukuuma obutungulu obuto paka nga bugumye ekimala okusimbulizibwa mu nimiro. Okukola beedi kikuyamba okubulabirira obulungi. Endokwa z’obutngulu zetaaga ettaka erikunkumuka. Beedi y’ensigo erina kukolebwa ku nkuba okulaba nga emirandira tegivunda. Ekigimusa ekivunze obulungi oba nakavundira bigatibwa mu ttaka nga osimba endokwa z’obutungulu.
Okusimba ensigo
Nga okozesa ensigo ez’omutindo kikuyambako ensigo zona okumera. Endokwa z’obutungulu zetaaga amabanga okukula nolwkyo tozisimba kumukumu. Ensigo zirina okutekebwa mu layini ku mabanga ga 5-10cm era nokuka 1cm olwo obike ensigo n.ettaka tono.
Yongerako okubika era obigyeko singa ensigo zimeruka. Okufukirira kukolebwa ku makya era kino kikuwa endokwa enamu nga ngumu ezivaako amakungula amalungi.