Ddi na butya eddagala eritta ebimera erifuuyirwa wansi w’omuti gye likozesebwamu.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=E6j0aW_Gb0I

Ebbanga: 

00:04:09

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

FNRClemson
Mu katambi kano, Clemson Extension Area Forestry and Wildlife Agent, Janet Steele, akulaga ebitandikirwako ku budde n'engeri y'okufuuyiramu emiti mu kibira kyo.

Ebisaka bisobola okufuuka ekitagasa mu nnimiro oba mu kibira kubanga bikoseza ddala okukula kw’ebirime n’emiti.

Waliwo engeri za njawulo ez’okuziyiza ebitonde ebyonoona ebirime n’ebisaka. Enduli z’ebisaka bweziba entono, osobola okwanguyizibwa okubiziyiza ng’okozesa eddagala lya foliar spray n’eddagala eritta ebimera naye enduli bweziba nga nnene ate nga mpanvu, awo weetaaga okukozesa eddagala eritta ebimera erifuuyirwa wansi w’omuti.
Ebisaka ebirina enduli ennene
Eddagala eritta ebimera erifuuyirwa wansi w’omuti ddungi ku bisaka ebiwanvu ennyo oba mu matabi.
Bwoba ofuuyira n’eddagala eritta ebimera erifuuyirwa wansi w’omuti kakasa nti olina eddagala ettuufu, ebbomba ewandiikiddwako ebipimo ne butto w’eddagala erifuuyira. Butto w’eddagala erifuuyira ayamba eddagala okuyingira mu nduli.
Era kakasa nti olina eby’okwekuumisa omuli gaalubindi ezibikka amaaso, ebibikka engalo, essaati y’emikono emiwanvu, empale empanvu n’engatto ezibikka ebigere oba gambuutu.
Eby’okuteeka mu nkola
Nga tonnafuuyira na ddagala eritta ebimera, obugazi bw’enduli si kyekikulu kyokka naye n’ekikula ky’ekikuta ky’omuti.
Engeri esinga obulungi ey’okutegeera oba eddagala ly’okufuuyira ddungi ku muti gw’okufuuyira kwekuggyako ekikuta ku nduli y’omuti n’enjala zo era bwoba osobola okulaba kiragala awo kiraga nti eddagala erifuuyira ddungi.
Fuuyira eddagala eritta ebimera ng’okozesa ebbomba y’oku mugongo nga erina akapiira akawanvu ng’okozesa amaanyi matono. Kakasa nti ofuuyira buli nduli inch 12 ku 20 okuva wansi.
Kakasa nti okozesa eddagala erifuuyira erisobola okutabulwamu butto kubanga eddagala eritabulwa mu mazzi lisobola okutwalibwa enkuba ne kirifuula obutabeera ddungi.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:24Ebisaka ebirina enduli entono bisobola okuziyizibwa obulungi nga okozesa foliar spray ey'eddagala eritta ebimera.
00:2500:41Eddagala eritta ebimera erifuuyirwa wansi w'omuti likozesebwa okutangira ebisaka ebirina enduli ennene oba ebyo ebiwanvu ennyo.
00:4201:15Ebikozesebwa ebyetaagibwa okufuuyira.
01:1602:55Ekika ky'ekikuta ekiri ku muti kirina okuzuulibwa nga tonnakozesa ddagala eritta ebimera erifuuyirwa wansi w'omuti.
02:5603:40Kozesa eddagala erifuuyira erisobola okutabulwamu butto so si eddagala eritabulwa mu mazzi.
03:4104:09Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *