Kubanga nkola yamugaso mu kukola ebigimusa, ebigimusa ebiva mu bintu ebivunda byongeera amaanyi mu bugiumu bw‘ettaka ekyanguyiza abalimi okufunibwa.
Ebigimusa ebiva mu bintu ebivunda bibeera ekintabuli ky‘obuwuuka obutono obuwa ebimera ebirungo nga bibuyisa mu ttaka oba mu mazzi. Rhizobium kekawuka akassinga okumanyika enyo era kabeera mu bubalabe obubeera ku mirandira gy‘ebimera era nga kagatta 20-50kg ez‘omuka ogwa Nitrogen mu buli yiika yettaka buli sizoni ekyongeza ku makungula ebitundu 15-30 ku buli 100 era nga ekirungo ekisigalira kikola mu sizoni eddako.
Enkozesa y‘ekigimusa ekiva mu bintu ebivunda
Okukola obulungi kizinzira ku kika ky‘ettaka, embeera y‘obudde wamu nenzijjanjaba y‘ebiwuka nobulwadde. Abamu bakozesa ebigimusa ebirala, abala bakozesa obuwuuka obutono enyo wamu negeri ezokugimusa ettaka endala
Otegeka ekirungo ky‘amazzi, nossiga ku nsigo, nosiiga ko ekigimusa ekiva mu bintu ebivunda bulungi notabula burungi. Oluvanyuma ensigo ozikaliza wansi wekisikirize era nozisimba mangu ddala nga bwekisoboka, Akawuka ka Azobacter kongera ku makungula, gateeka 10kg eza Nitrogen mu buli yiika y‘ettaka buli sizoni era nga kayambako okumeruka kw‘ensigo. Kakozesebwa nemukunyika ensigo, okunyika emirandira nokusasanya ettaka.
Sibyebyoka naye era osobola okubikzesa nga okozesa nakavundira. Bikozesebwa mukukola ebirungo ebikuza ebimera era bikumire mu ttaka okwongera ku nkulamu y‘ebirime. Akawuka ka Azobacter kazaala ekirungo kya antibiotic ekiziyiza obuwuka bwa fungi, bacteri a ne Virus.Kiyambako okuleeta ekirungo kya Phosporus.
Okweyongeryo, ekigimusa ekirala ekiva mu bivunda kye ki; Azosprillum nga nakyo kiteeka nitrogen mu ttaka era nokwengera okubeerawo kwa Phosporus, Zinc, Copper ne Sulphur. Kino kiyamba ebimera okunywa amazzi n‘ebirungo era ebimera nebifuna n‘emere. Singa olunnyo oba pH ebeera wansi, Phophorus akwekwebwa naaba nga tasobola kulibwa birime. Kino okuvaawo olina kukozesa akawuka ka bacteria akakyuusa enmbeera za phosphorus nabeera nga ebimera bimufuna.
Akawuka kano aka bacteria kakozesebwa mu kugema ensigo, okunyika emirandira oba okukasasanya mu nimiri mwenyini. 00g ez‘akawuuka kano ka PSB zezetagibwa okugema ensigo ezekigero ate obusigo obutono bwetaaga 100g. Bwekuba kunyika mirandira, otabula 1kg eya PSB mu 10-15ltr z‘amazzi olwo nonyikamu emirandira okumala edakiika 5 era osimba kumakya ddala wabula ate bwekuba kusasanya mu nimiro otabuala 3-5kg mu 50kg eza nakavundira nokozesa ebyo. Ekigumusa ekiva mu bintu ebivunda olina okukikumira mu kifo ekiwewevu nga tewali bintuntu ebikolerere..
Nemukusembayo, tokozesa kigimusa kino nga kiyiseeko era kozesa buwuka bumu nabumu obwa Rhizobium okufuna ebivaamu ebirungi.