Bwoba oyagala okukungula ebijanjaalo ebimera oyina okusimba mu mabanga amagere ate n‘osimba embala y‘ebijanjaalo ekakasiddwa era ng‘aweyambisizza ebigimusa.
Ebijanjaalo bitera kukungulwa mu kitundu eky‘okubiri mumassekati ga sizoni y‘enkuba. Kino kitera kusala kumakungula era n‘ekyonoona n‘ebijanjaalo ebiri musitoowa naddala bwebirumbibwa kawukuumi n‘obukuku.
Okulima ebijanjaalo
Bwosimba ebijanjaalo nge‘kirime ekyokubiri ku kasooli lekawo amabanga ga sentimita 25 wakati wennyiriri ne bimera. Osobola okusimba ensigo 2 oba 3 buli kinnya. Osobola okusimba enyiriri 2 ez‘ebijanjaalo mu buli lunyiriri lumu olwa kasooli. Ebijanjaalo tebirina kusakatira okwewala ensasaana y‘enddwadde.
Ebijanjaalo bikola ekirungo kya nitrogen nga bikozesa emirandira gyabyo nolwekyo kirungi emirandira okula obulungi. Kulwe emirandira okukula obulungi weetaaga ekirungo kya phosphorus n‘olwekyo osobola okozesa ekigimusa ekirimu ebirungo ebisuka mu kimu. Oluvanyuma nga ekigimusa kizikidwa kigenda buterevu mubijanjaalo okwanguya enkozesa osobola okutabika mu mazzi.
Okutereka ebijanjaalo
Oluvanyuma lwo kukungula, olina okukaza ebijanjaalo era nobiteeka wamu ne bisusunku. Okukakasa nti ebiwuka tebiyingita, kozesa obukutiya bu satu. Bwoba otekateka okutereka ebijanjaalo mu kyagi ekye kyuma, kirongose era kijuze nebijanjaalo ebiyonjo. Oluvanyuma gattamu empeke.
Buli kkilo 150 ezebijanjaalo kozesa empeke emu. Teeka empeke mupukopo obweyambisibwa omulundi gumu okusobozesa obutegatta wamu nabijanjaalo, oluvanyuma sanikira ekyagi ekyakadongo kinywere bulungi nga weyambisa enkoba. Kawukuumi abiika amagi kubijanjaalo nga bikyali munnimiro. Gano amagi gasobola okusanyizibwawo empeke nga ziteredwa mu kyagi ekyekyuma. Ekyagi tekirina kuba nabituli okwetangira kawukuumi okuyingira ekyagi.
Oluvanyuma lwe naku 12 jjamu empeke mukyagi era zibikibwe buterevu muttaka okuziyiza abaana oba ebisolo okulya obutwa. Buli lwosanukula ekyagi kakasa nti okisanikira mu bwangu nate okuziyiza kawukuumi okuyingira.