Ebintu by’obutonde ebyongera ku nkula y’enkoko z’ennyama

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=uenqUsaBlCs

Ebbanga: 

00:08:17

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AGRIBUSINESS INSIDER
Mu katambi kano, ngenda kukulaga ebintu munaana ebyongera ku nkula y'enkoko z'ennyama/ ebintu ebiyamba enkoko okukula n'okugejja amangu. Ekirala, ngenda kukulaga emiganyulo ebintu by'obutonde ebyongera ku nkula y'enkoko gye bijja okuba nagyo bw'obiriisa enkoko zo wamu n'obungi obulagiddwa bw'olina okuliisa enkoko zo oluusi mu mazzi oba mu mmere.

Buli mulunzi w’enkoko z’ennyama ayaayaana okufuna obuzito obwetaagibwa mu budde obusuubirwamu, naye oluusi kino tekisoboka.

Okukula empola mu nkoko kusobola okubeerawo olw’ebyobulamu bw’enkoko, endabirira y’enkoko n’okuziriisa emmere ey’omutindo omutono. Edda, abalunzi b’enkoko z’ennyama baatabulanga emmere n’eddagala okwongera ku kukula kw’enkoko naye kino kirina ebizibu bingi nga okuteekamu ekingi n’obuzibu mu byobulamu bw’enkoko n’abantu era kireetera abantu n’ensolo okufuna obuwuka obulwanyisa eddagala.
Ebintu ebyongera ku nkula 
Katunguluccumu; ono azuuliddwa okuba ekintu eky’obutonde ekyongera ku nkula y’enkoko kubanga ayongera ku kukula, emmere eriibwa, akendeeza ku kufa kw’enkoko n’ayongera ku kukula kw’obuwuka obw’omugaso mu lubuto. Obungi obulagibwa ze kilo 3 eza katunguluccumu w’obuwunga mu buli kilo y’emmere.
Ekirime ekiyitibwa bitter kola: kino kirina ebirungo eby’omugaso nga iron, ekirungo ekigumya amagumba n’amannyo, fibre n’ebirungo ebirwanyisa obuwuka obuleeta endwadde era kyongera ne ku nkula y’enkoko. Kikozesebwa nga kikaziddwa mu kasana ne kisekulwa okufuuka obuwunga olwo obuwunga bwa 25g ne bugattibwa mu buli kilo y’emmere. 
Ekinzaali ekiganda: kino kigwa mu kika ky’entangawuzi. Kino kirwanyisa obuwuka obusirikitu, kirwanyisa obulwadde bwa coccidiosis, kirwanyisa ebireeta obukosefu. Era kyongera ku kukula era obungi obulagibwa ze 7.5g ez’obuwunga mu buli kilo y’emmere.
Ekirime kya cloves: Okusukka ku kubeera ekintu ekyongera ku nkula y’enkoko, zikola nga eddagala era ziyamba ne mu kukuba emmere mu lubuto. Obungi obulagibwa ze 0.15g ez’obuwunga bwa cloves mu buli kilo y’emmere.
Eddagala eriyitibwa thyme: okuteeka 1g ey’obuwunga bw’eddagala lya thyme mu buli kilo y’emmere kyongera ku nkula y’enkoko z’ennyama. 
Entangawuzi; eno eyamba mu kukuba kw’emmere mu lubuto era etta ebiwuka ebinyuunyunsi. Okuteeka ebitundu 2% eby’entangawuzi mu mmere kyongera ku kukula kw’enkoko z’ennyama kwe kugamba nti teeka 20g ez’entangawuzi y’obuwunga mu buli kilo y’emmere.
Kaamulali (cayenne pepper): ono ayongera ku bwagazi bw’enkoko okulya olwo ne kyongera ku mmere eriibwa n’okwongera ku kukula kw’enkoko. Atta n’enjoka zoomu lubuto era akozesebwa okujjanjaba obulwadde bwa coccidiosis. Ekigero kya 0.5g mu buli 100g ez’emmere.
Ekirime kya black pepper: ono alina ebirungo ebyongera ku kukula mu nkoko z’ennyama ku bungi bwa 10g eza black pepper ow’obuwunga mu buli kilo y’emmere.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:22Enkoko oluusi zikula mpola.
01:2302:19Katunguluccumu akola nga ekiyamba ku kukula kw'enkoko eky'obutonde.
02:2002:59Ekirime ekiyitibwa bitter kola: kino kirina ebirungo eby'omugaso nga iron, ekirungo ekigumya amagumba n'amannyo, fibre n'ebirungo ebirwanyisa obuwuka obuleeta endwadde.
003:0003:48Ekinzaali ekiganda kirwanyisa obuwuka obusirikitu, kirwanyisa obulwadde bwa coccidiosis, kirwanyisa ebireeta obukosefu.
03:4904:29Cloves zikola nga eddagala era ziyamba ne mu kukuba emmere mu lubuto.
04:3005:15Eddagala eriyitibwa thyme: okuteeka 1g ey'obuwunga bw'eddagala lya thyme mu buli kilo y'emmere kyongera ku kukula kw'enkoko z'ennyama.
05:1605:43Entangawuzi eyamba mu kukuba kw'emmere mu lubuto era etta ebiwuka ebinyuunyunsi.
05:4406:20Kaamulali (cayenne pepper) ayongera ku bwagazi bw'enkoko okulya, kyongera ku mmere eriibwa n'okwongera ku kukula kw'enkoko.
06:2106:50Ekirime kya black pepper kirina ebirungo ebyongera ku kukula mu nkoko z'ennyama
06:5108:17Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *