Abalimi abatera okulima ebitooke ne mwanyi nga biri wamu bafuna amakungula mangi era ne sente bwogerageranya abo abatakikola.
Wabula okufuna amakungula amalungi abalimi balina okulemera ku nkola ey’endabirira entuufu okugeza okusalira oluberera, okukuuma omuwendo gw’ebikolo omutuufu, okusigulanga ensukusuka wamu n’okukendeeza amatabi.
Ebirungi by’okugata ebirime mu nimiro
Okwongera ku nyingiza kwosa nokukola ensibuko ya sente enzigumivu eri abalimi.
Obutagweesa mere kubanga amatooke gakungulwa okuyita mu mwaka gwona.
Okuyingiza sente oluberera nekiyamba abalimi okutukiriza obwetavu bwabwe obwa buli lunaku.
Okufuna sente za sizoni enyingi eri abalimi kubanga emwanyi zikungulwa emirundi ebiri mu mwaka.
Sente ezivamu okutwalira awamu zikubisibwamu kubanga ebikungulwa biba bingi ku ttaka limu.
Ebitooke bikola ebisikirize ate bivaako ebibika emwanyi nekitangira omuddo, nekikuuma amazzi mu ttaka, kikendeeza okuluguka kw’ettaka wamu nokwongera obugimu mu ttaka.