Ebiti bya muwogo eby‘omutindo bivaamu amakungula amalungi ate nga mangi. Okusimba ebiti ebyasimbwako kisasaanya endwadde nga okulaala ne kigenge.
Okulima ebiti bya muwogo eby‘embala byetaaga enteekateeka okusobola okufuna ekirime ekirungi. Ebiti bya muwogo tebisobola kuterekebwa bbanga ddene. Abalimi basimba muwogo naye kubbo batono abagula ebiti.
Ebiti byamuwogo eby‘omutindo
Tandika n‘okulonda ekifo ekituufu era teekateeka ennimiro nga bukyali okufuna munkuba esooka nga bwewekakasa n‘obugimu bwettaka kulwokukula kw‘ekirime ekirungi.
Ssalawo ku bika byogenda okweyambisa ate obikwate n‘obwegendereza kulw‘amakungula amalungi. londa ekifo ekitaliimu bulwadde bwa muwogo okukendeeza ku kufiirizibwa. Weyambise ebiti eb‘omutindo ebitongozeddwa okuziyiza obutamera.
Ekirala simba muwogo ku ttaka eggimu eririna obusobozi okukuuma amazzi ebbanga, nga lyangu okulima n‘okukabala kabala ennimiro osobole okusimba munkuba esooka.
Weeyambise ebiti ebisobola okugumira endwadde nga bijjiddwa okuva mu bitongole ebinoonyereza, n‘abatunzi abalina olukusa,
Ensimba ya muwogo
Kozesa ebiti ebikulu ebiri mu myezi 9 – 12, ebitalina bulwadde kulw‘amakungula amalungi. Naye biyina kuba bimpi mukigero. Bisimbirewo bisobole okumera obulungi nga bya maanyi.
Gula emiti gya muwogo nga miramba nga gimaze okulambulibwa n‘okwekebejjebwa kulwo kukula obulungi. Wewale okupakira, nokutambuza ebiti mubudde bw‘omusana ogwaka ennyo okwewala okubikaza. Beera mwegendereza ng‘otikka oba okutikkula okwewala okukolobola ebiti.
Tematema emiti mu bipimo bya 20- 30 cm n‘obukongolijjo 5 buli kiti okusobola okumera. Bitereke mu kisikirize nga bw‘obifukirira okubitaasa okukala. N‘ekisembao, simba mu bugazi bwa mita e‘mu ku‘emu okumusobozesa okubala ennyo.