Emigaso gy’kukozesa enzijjanjaba ey’obutonde
Okusooka, amazzi ga sukaali gayamba okuzukusa ebinyonyi ebirwadde sako ebifunye ebisago, gajjanjaba ekiddukano wamu n’ekkabyo. Okugattako, omubisi gw’enjuki guwonya ebizimba n’amabwa, guno gusigibwa ku nkoko awazimbye n’ekubiwundu. Era ne vinega wa apple ajjanjaba emimiro, atta obuwuka obw’obulabe bu bacteria , okwongera ku basirikale b’omubiri, okwongera ki mbiika y’amagi, wamu n’okutumbula ku kukula.
Entekateka y’ebirungo
Okukola amazzi ga sukaali gata 75g eza sukaali mu buli liita y’amzzi ag’okunywa. Era ogatte 2MLs eza vinega mu buli liita 2 ez’amazzi okumala enaku 2-3 buli mwezi. Okwongerako, gatta 50MLs eza kaloddo mu liita 2 ez’amazzi g’okunywa owe ebinyonyi okumala esaawa nnya. Ekisembayo, kozesa ekitundu ky’ekijiko ekya baking soda wamu n’ekitundu ky’ekijiko eky’omunnyo mu liita 1 ey’amazzi g’enkoko.