Ebibala by’amapeera byagalibwa nnyo abali bangi kulwemigaso eri obulamu gyegalina okuyiga okugalima kiyamba abalimi okwongeza ku nyigiza.
Wabula ekibala kino kirumbibwa ebiwuka ebyamanyi kwegamba akasowera(fruit fly), mealybug, guava fruit borer, akasanyi akalya ekikuta ky’omuti , mosquito bugs ne white fly nga ogatako amapeera amayunge gakula mangu ku myaka 2 ku 3 bwogerageranya agasimbidwa okuva ku nsigo agamala emyaka 4 ku 5.
Ebikozesebwa ebituufu nga okungula amapeera ke kayuuya oba ekyuma elinoga ebibala.
Enima paka kukungula
Nga tonasimba wumba wumba ettaka era osimbe nga layini zesalamu nga ebinya biri 0.75-1m3 obuwanvu okwewala amazzi okulegama wamu nokumera obulungi, olwo osimbe mu binya nga byabugazi bwa 60 ku 60cm okusinzira ku ntoonya y’enkuba nga byeyawude 5-6m mu biseera byokulima era ebinya obitekemu nakavundira kilo 20-25, 500g eza SSP, 50g eza linden powder wamu ne kilo 1 eya neem cake okwewala enkuyege olwo gakule bulungi.
Okusobola okuzaala endokwa enungi olina okusimba ensigo eva ku miti emirungi era ofuyire nga emiti nga okozesa zinc sulphate 0.45kg ne slate lime 0.34kg nga omutabude mu malobo g’amazzi 70 ku 74 okujjanjaba ebulwa lya zinc wabula nga teganamulisa, fuyira o.4% boric acid ne 0.3% zinc sulphate oba 0.2-0.4 copper sulphate okwongera ku makungula wamu n’obunene bwekibala.
Okwongera kwekyo, lwanyisa omuddo okusobola okufuna ebirime ebigimu, okukendeeza ku kulwanira ebiriisa wamu nokwesiba ku miti. okusobola okwewala obtababi obunafu kulamu nengalo era osobozese amatabi agomubbali okumeruka era ofuyire eddagala ly’ebiwuka erisanide ku biwuka ebimanyikidwa, ekisembayo kungula ng okozesa ebikola ebituufu mu budde obutuufu kubanga amapeera amayunge gakula mangu.