»Ekyama mubulunzi bw‘enkoko zamagi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Fpn9WmxyQ8Q&t=69s

Ebbanga: 

00:03:20

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Adams Farm Foods
»Ebyama mukulunda enkoko zamagi«

Enkoko zatunzi munsi yonna kubanga zirimu ensimbi nnyingi ate nga n‘enyama yaazo yeyambisibwa mukufumba. Enkoko ennamu obulungi zibiika amagi mangi.

Esangi zino enkoko ezamagi ezirundibwa zibiika amagi 300 buli mwaka era oluvannyuma lw‘emyezi 12 enkoko zikendeeza kumagi agabikibwa. Ebimu kubiretera enkoko okubiika obulungi biri nti enkoko zirina okuba nga namu era nga ziri mumbeera nungi. Mubulunzi bw‘enkoko kyamigaso nnyo okukumira enkoko munnyumba kubanga kino kiziyaamba okula obulungi, okwetagira e‘ndwadde awamu n‘okubiika obulungi.

Ebigobererwa mubulunzi

Buli kiseera likiriza enkoko ku biriisa ebirimu ekirungo ekigumya amagumba „Calcium“ kino kiyamba enkoko okubeera n‘amagumba amagumu awamu n‘okibiika amagi agalina ekisusunku ekigumu. Ekirala enkoko zikuumire munnyumba zaazo okwetagira endwadde wamu n‘ebisolo ebiziyigannya. Kakasa nga enkoko zirisibwa kumere ey‘omutindo nga erimu ebirungo ebiziyamba okula wamu n‘okubiika obulungi. Nekisembayo enkoko toziriisa mmere nnyingi kisisobozese okubiika obulungi. Enkoko ezibiika obulungi ziba nekisakiro nga kigoonvu, zibeera zamanyi ate nga nene bulungi wabula ezo ezitabiika bulungi ziba nkovu ate era nga nafu nyo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:35Enkoko zirimu ensimbi nnyingi ate nga n‘enyama yaazo yeyambisibwa mukufumba. Enkokoko ezibiika ziyitibwa „layers“.
00:3601:08Enkoko bisolo by‘amubantu, enkoko ensajja zirwanagana bw‘ezirundibwa mukifo ekimu.
01:0901:30Enkoko ezitarundiddwa munnyumba zitayaaya awamu n‘okwekweeka ebisolo ebiziyiganya. Ensangi zino abalunzi be nkoko balundira mubiyumba.
01:3101:52Esangi zino enkoko ez‘amagi zibiika amagi 300 buli mwaka era oluvannyuma lw‘emyezi 12 zikendeeza kumagi agabikibwa.
01:5302:08Nga oyagala enkoko zibiike bulungi kakasa nga ziri mumbeera nungi era ey‘eyagaza.
02:0902:28Enkoko ezibiika obulungi ziba nekisakiro kigoonvu, ziba zamanyi ate nga nene wabula ezo ezitabiika bulungi ziba nkovu ate era nga nafu nyo.
02:2902:56Enkoko ennamu zibiika amagi mangi. Kakasa nga olikiriza enkoko ku kirungo ekigumya amagumba wamu n‘okuzikumira munnyumba.
02:5703:20Kakasa nga enkoko zirisibwa kumere ey‘omutindo omulungi ate ekirala enkoko toziriisa mmere nnyingi.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *