»Endabirira y‘emiti gy‘entende«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/date-palm-management

Ebbanga: 

00:06:50

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Ministry of Agriculture, Iraq
»Enkola ezimu ez‘okuwabula ku ndabirira y‘emiti gy‘entende n‘ebyokukola okukendeeza ku bungi bw‘amazzi mu bbanga, okusalako amatabi, okutabika ebirime n‘okuggyamu omuddo.«

Omuti gw‘entende mwangu gwakulumbibwa ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde, naye okusalako amatabi, okutabika ebirime n‘okuggyamu omuddo bisobola okuyamba okubyewala.

Okusalako amatabi y‘emu ku nkola ez‘enkukunala, eziziyiza ebiwuka okubiika amagi gaabyo ku matabi g‘omuti gw‘entende era kyanguya n‘okulinnya. Kino kikolebwa nga bakozesa najjolo ennungi ng‘obukuba bufuuyirirang‘ebirime birina amazzi ekyanguya omulimu.

Okutabika ebirime

Okutabika emiti gy‘entende n‘enva endiirwa kiyamba okusikiriza ebiwuka eby‘obulabe eri ebitonde ebyonoona entende era birya n‘amagi gaabyo. Ebisigalira by‘enva endiirwa ezitabikiddwa bisobola okutabulwa n‘ettaka okwongera ku bugimu bwalyo.

Gya omuddo wansi n‘okwetooloola emiti gy‘entende okuggyamu omuddo. Guno guleeta okukendeera mu bungi bw‘entende nga gukuuma ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde, okuvuganya ku mazzi n‘ebiriisa wamu n‘okwongera ku bungi bw‘amazzi mu mpewoekireeta okuwumba ekireeta ebirwadde.

Okukozesa enkola zino kisobola okwongera ku bungi bw‘entende, omutindo, obunene bw‘ebibala era n‘okuvujjirira okukula kw‘ebirime olwo amagoba ne geeyongera. Zikendeeza ne ku nkozesa y‘eddagala ly‘ebirime.

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:39Okukendeeza ku mazzi mu bbanga kiyamba okukendeeza ku muwendo gw‘ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde mu miti gy‘entende.
00:4000:49Amazzi mu bbanga geewalibwa mu kusalira / okusalako amatabi, okutabika ebirime n‘okuggyamu omuddo.
00:5002:00Okusalako amatabi kukendeeza ku mbiika y‘ebiwuka ku matabi era kyanguya n‘okulinnya emiti.
02:0102:25Okutabika emiti gy‘entende n‘enva endiirwa kiyamba okusikiriza ebiwuka eby‘obulabe eri ebitonde ebyonoona entende.
02:2603:50Ebisigalira ebiva mu kutabika ebirime n‘okusalira bisobola okutabulwa n‘ettaka okwongera ku bugimu bw‘ettaka.
03:5105:10Omuddo wansi n‘okwetooloola emiti gy‘entende.
05:1105:30Okusalako amatabi, okutabika ebirime n‘okuggyamu omuddo buli kiseera kyongera ku bungi bw‘entende, omutindo, obunene bw‘ebibala n‘okuvujjirira okukula amangu.
05:3106:50Bino era bikendeeza ku bwetaavu bw‘eddagala erifuuyira ebiwuka.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *