Omuceere guliibwa mu bitundu ebisinga ebungi olw‘okweyongera mu bungi bw‘abantu, okukula kw‘ebibuga n‘enkyukakyuka mu bantu bye baagala okulya. Wabula, abalimi bangi balina okumanya kutono ku kulima omuceere.
Waliwo emiganyulo egy‘enjawulo egiri mu kuttira mu muceere gye tuyinza okwogerako; kikuuma embala nga tetaataaganyiziddwa, okufuna amakungula amangi, ensigo ez‘omutindo n‘empeke, kifuula ekyetaagisa okuseeseetula mu bubaati nga gutwaliddwa ku kyuma okugusa, kikendeeza obungi bw‘empeke ezimenyeka.
Endabirira ennungi ey‘omuceere
Londa ekifo nga kirimu eggimu ery‘olufuufu oba ery‘ebbumba nga kiriraanye amazzi ku muceere ogukulira mu bitundu eby‘ebikko, oba ettaka eritalegamamu nnyo mazzi ery‘olusenyu eggimu wamu n‘amazzi amatonotono ku muceere ogwagala obusozisozi.
Lima nga omementula amafunfugu olw‘okufuna obulungi mu kukozesa ebigimusa, okwongera ku busobozi bw‘ettaka okuyitamu amazzi, wamu n‘okumeruka obulungi okw‘ensigo n‘okuziyiza omuddo.
Londawo ensigo ez‘omutindo ezikakasiddwa eziria enneeyisa ennungi okugeza; obusobozi bw‘okubala ennyo, okugumira ebitonde ebyonoona ebirime wamu n‘endwadde.
Kola okugezesa kw‘obusobozi bw‘empeke okukula era osimbe nga osinziira ku nsigo ezimeze. Bwe zisukka ekipimo kya kinaana ku kikumi, simba ensigo ssatu ku nnya, bwe zibeera wakati wa nkaaga n‘ekinaana ku kikumi simba ttaano ku mukaaga, era bwe zibeera wansi w‘ekipimo ekya nkaaga ku buli kikumi, tosimba.
Longoosa ensigo nga okozesa amazzi agalimu omunnyo n‘akakodyo akamanyiddwa nga “egg technique“ okuggyamu obujama.
Simba omuceere mu mmerezo omuli amazzi oba omutali era osimbulize mu mabanga amatuufu era ottire.
Nga wabula wiiki bbiri okusimba, teeka ensawo kikumi mu ana ku kikumi mu nkaaga ez‘obusa oba ensawo kinaana eza kalimbwe mu buli bugazi bwa hectare, buli kasawo nga ka kkiro ataano era omutabule mu ttaka okwongera ku bugimu bw‘ettaka.
Koola oluvannyuma lwa wiiki ssatu n‘omukaaga okukendeeza ku kulwanira ebiriisa.
Ziyiza ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde nga olima ebika ebigumira embeera wamu n‘okukuuma obuyonjo bw‘ennimiro.
Ekisembayo, kungula nga ensekeseke kinaana ku buli kikumi zifuuse za kitaka, gutuume wamu, kuba omuceere.