Obumyu buzaalira wakati w‘ennaku 29 ku 32 era n‘ebuzaala obwana nga 5 oba 10 buli mulundi. Obumyu buzibula amaaso mu nnaku 8 ku 10 olwo n‘ebugejjera wakati w‘emyezi 3 ku 4 era buba butuuse okutundibwa.
Nga oyita mu kulabirira obulungi obumyu obuli eggwako n‘obw‘akazaala mpozzi n‘obuto kiyamba okwongeza amagoba n‘emmere eri abalimisinga oba ogoberedde gino emitendera;
Teekawo olusaniya olutono nga luwewevu okugeza ekutiya okusobozesa obumyu okufuna ebbugumu era liisa obumyu n‘ekirungo ekiggumya amagumba ekya Ostro n‘omuddo ogututumuse ebiyamba obumyu okukula obulungi.
Okufaayo n‘okulabirira
Fuba nnyo okubuwa amazzi amayonjo n‘emmere erimu ebirungo oluvanyuma lw‘okuzaala era okakase oba akamyu akazadde kaliisiza obwana bwako nga okebeera olubuto olwo oteeke akamyu kano akazadde ku ttaka oliise obumyu obuto oba buliisa emirundi essatu olunaku.
Ekirala liisa akamyu akazadde emmere erimu ebirungo emirundi ebiri olunaku okwongera ku bungi bwa mata n‘okukakasa nti obumyu obuto bukula bulungi kyokka ate ekirala teeka obwana buno mu kibokisi omuli ebikutiya nga mulimu ettaala mu budde bw‘empewo kuba obumyu obuli wakati wa ebitundu 15-20 ku buli kikumi bufa obunyogovu.
Yawula obwana buno okwanguyiza okuliisa. Era osobola okwongeramu 1ml eya mazzi nga ogenda kuwa obwana buno bw‘ebuba nga butono,ejjiko emu ey‘ekirungo kya vitamini ow‘obuwunga mu liita 5 ez‘amazzi okukendeeza ku bizibu ebiyinza okulumba enzisa y‘obumyu n‘okubuddukanya.s
Mu kumaliriza,obumyu buwe amazzi amayonjo n‘omuddo gw‘ensekeseke era obuteeke mu biyumba eby‘enjawulo mwebusobola okulira amangu n‘okwewala obulwadde.