Abalunzi b‘enkoko bangi basanga obuzibu mukuza obukoko obuto.
Mukulizo ly‘obukoko usaana okuteekamu ebbugumu erimala okuyamba kubukoko okula obulungi. Osobola okozesa essigiri etaleeta muka n‘owa obukoko ebbugumu erimala mukulizo. Esigiri erina okukumiwa wabweeru w‘ekiyumba kubanga omuka guyisa bubi obukoko obuto wamu nokutataganya munkula yaabwo.
Endabirra y‘obukoko
Mukulizo ly‘obukoko ekifo obukoko w‘ebuliira wamu n‘okunyweera byamugaso nnyo kubanga kino kikendeeza enkoko okwesindika ennyo mukulya n‘okunywa kuba kiyinza okuziviirako okufa. Kyamugaso nnyo okuteeka obukoko 50 kubuli kinyweerwamu wamu n‘enkoko weziriira.
Kebera ebbugumu mukiyumba kyobukoko nga okozesa akapima ebbugumu (thermometer) oba nga wekenenya bulungi eneeyisa y‘obukoko mukiyumba. Obukoko bw‘ebubeera nga buwulira empewo bw‘ekunganya kunsonda emu ey‘ekiyumba okusobola okweewa ebbugumu. Ate bwebubeera nga buwulira ebbugumu bubeera bwasamye era nga kitataganya munkula kubanga tebuzimba bulungi mubiri. Singa okozesa akapima ebbuguu ( thermometer) erina okuwanikibwa mukiyumba nga kaleebetera wansi ddala kumpi n‘obukoko.
Mkiseera ng‘okeera ebbugumu mukiyumba ky‘enkoko kakasa nga ebbugumu mukiyumba kino terisuka diguli bbiri kubanga kino kiviirako obukoko okugwaamu amazzi mumubiri olwo nebutawanyizibwa mukulumya kalibwe obulungi.
Obukoko buwe ekitangaala ekimala wamu nokukakasa ng‘ekiyumba kiyisa bulungi empewo kisobozese obukoko okukula obulungi.