Endabirira y‘okumusana byebyo ebintu byogoberera mu biseera bye kyeeya okukendeza ekabyo eriva ku buggumu mu nte z‘amata.
Ebbugumu eriyitiridde mu bilaalo by‘ente bulijjo bireeeta ekabyo eri ensolo ekikendeeza ku ngeri kyezigabamu era nekikendeeza obungi bw‘amata agakamibwa okuva mu nte, lireeta obulwadde mu nsolo era nekivirako okufirwa okunene nolwekyo kakasa nti olabirira bulungi mu kyeeya okutekawo embeera esaniide obulamu bw‘ebisolo mu biseera by‘omusana.
Okukendeeza ebbugumu
Zimbanga ekiralo nga kitunula buvanjuba oba bugwanjuba nga kiyitamu empeewo bulungi okwewala enjuba okuzikubamu.
Era kozesa ebikendeeza ebbugumu okugeza ebisikirize, ebiwujjo, ebisibi, ebyuma ebikyusa empweo n‘obufukirira amazzi okukendeeza ku kabyo mu nsolo eriva ku bbugumu.
Okwongerako, ebisolo biwe amazzi g‘okunywa nga mayonjo okukendeeza enyonta mu bisolo.
Okweyongerayo, ebisolo biwe omuddo omukka oggulimu amazzi ogwa kiragala ku makya n‘olweggulo.
Ekisembayo sima ebidiba by‘amazzi okwetolola faamu ebisolo bisobole okuwuga mu naku ez‘ebbugumu enyo.