Engeri ez‘enjawulo ez‘okutangira n‘okuziyiza akasanyi mu kasooli kyongedde ku makungula. Wabula, okukola obulungi okw‘enkola ezo kwawukana ekintu ekyongera ku nsimbi ezisaasaanyizibwa mu kulima.
Kasooli akosebwa akasaanyi ku mitendera gyonna ekyanoonera ddala kasooli.
Obulamu bw‘akasaanyi buli wakati w‘ennaku asatu mu bbiri ku ana mu mukaaga okusinziira ku bbugumu eririwo.
Ebbugumu erisusse lyongera ku bungi bw‘ebitonde ebijja mu kukula kw‘ekirime.
Omwetooloolo gw‘obulamu
Amagi gaalula mu nnaku biri ku nnya okufuuka akasaanyi akalya ebikoola okumala ennaku kkumi na ttaano ku abiri mu omunaana.
Ebisaanyi bigwa wansi okufuuka nnamatimbo mu buwanvu bwa ssentimmita bbiri ku ssatu mu ttaka, mu nnaku musanvu ku kkumi n‘ennya, ebiwojjolo ebipya bivaayo.
Ebwojjolo ebikazi bifa mangu oluvannyuma lw‘okubiika amagi era ebikulu bisengukira mu kkiromita bikumi na bikumi nga biyambibwako empewo.
Ebisaanyi ebyaludde bibeera mu nnyingo wakati w‘enduli n‘ebikoola, birya ne bikuba ebituli era oluvannyuma bisaasaanira ku bimera ebipya.
Akasaanyi kakosa ebitundu kinaana ku buli kikumi eby‘ekirime singa kaba tekanguyiddwa.
Obukosefu obuva ku kukozesa eddagala okutangira akasaanyi
Kireetera okwonooneka kw‘obutonde okutagambika.
Okuttibwa kw‘obuwuka obusirikitu obutalina buzibu ku kirime, kikosa obulamu bw‘abantu era kyongera omuze gw‘obutawulira ddagala eri ebiwuka eby‘omutawaana.
Okutangira nga okozesa enkola ez‘obutonde
Omugatte gw‘enkola ezitangira ebitonde ebyonoona ebirime gulimu okukozesa ebitonde ebirya ebyo ebyonoona ebirime mu nnimiro n‘okukendeeza okw‘amaanyi ku nkozesa y‘eddagala eritta ebitonde ebyonoona ebirime.
Enkola ez‘obutonde ezitangira ebitonde ebyonoona ebirime mulimu okukozesa ebisaanyi ebirya akasaanyi, ebiwuka ebirya ebitonde ebyonoona ebirime n‘eddagala ery‘obutonde eritta ebitonde ebyonoona ebirime okuyita mu buwuka obusirikitu obuleetera ebiwuka endwadde.