Amalagala ga lumonde ge gamu ku nva endiirwa zetulina eziwooma era nga mangu gakulimibwa.
Ebbugumu eriri waggulu wa 70 lireetera lumonde okukula amangu ate eriri wansi wa 50 lireetera amalagala okuwotoka. Oluvanyuma lw‘okukungula, lumonde alina okufumbibwa amangu kubanga aba sagwamu obuwoomi.
okubyala amalagala
Londa ekika ky‘amalagala ekirungo ate nga kiwooma.
Ggyako ebikoola by‘amalagala era oziika ekitundutundu ky‘amalagala nga kiweteddwamu wansi katono mu kikata okusobozesa empewo okuyingira obulungi kigiyambe okukula obulungi.
Oluvanyuma lwa wiiki 1 ku 2 simbuliza nga amalagala gameze.
Gattamu ebigimusa eby‘obutonde mu ttaka era obikyusekyuse omale obiziike kisobozese lumonde okukula obulungi.
Byala endokwa olekewo ebbanga lya fuuti emu era olekewo ebbanga eriri wakati wa fuuti 3-4 kubanga amalagala gasaasaanira mu kifo kigazi.
Londa amalagala agalina ebikoola bibiri okuva ku kasongezo kisobozese amalagala amalala okukula amangu.
Fuuyira n‘ebigimusa eby‘amazzi era ogyake amalagala agakaddiye, oteme omufulejje okulinaana ekikata ogujjuze n‘ebigimusa ebikoleddwa mu butonde okuza ekikata obugya.
Kozesa ebigimusa eby‘obutonde okusobozesa lumonde okweyongera okukula era okungule oluvanyuma lwa wiiki bbiri.