Okubala kwobutungulu kuyinza okweyongera ng‘obulimye ku ttaka ejjimu ngotaddemu kitono. Obugimu buyinza okweyongera ngogasseemu nnakavundira oba ebigimusa ebizungu. Obutungulu buyinza okulimwa ku ttaka ly‘olusenyu ng‘aweeyambisa ebigimusa okugeza obusa obuluddewo oba nnakavundira nga bino biwa ekimera emmere. Ekigimusa okuva mubutonde kitabulwa n‘ettaka wakiri ssenitmita 10-20 okukka mu ttaka.
Obugimu bw‘ettaka
Ssaamu amazzi agamala, kuba amangi ennyo gasabuluula ebigimusa n‘ebikka mu ttaka. Oba ssi ekyo yongera kubusobozi bwettaka okukwata amazzi ngogattamu nnakavundira nga tonasimbuliza kulwokula kwekirime okutuufu.
Sasaanya nnakavundira ng‘omutabudde ne‘ttaka ly‘okungulu engeri obutungulu engeri obutungulu gy‘ebulina emirandira emimpi.
N‘obwegendereza tekako ebigimusa ebigule nga nitrogen, phosphorus ne pottasium wiiki 2 oluvannyuma lwokusimbuliza, nitrogen ayambako mu kukola ebikoola amangu, phosphorus ku kukola emirandira n‘e potassium mu kwongera ekirime okugumira endwadde. Ekirungo kya potassium kirina okussibwa mu makoola n‘ekirime nga kiraze obubonero obulaga nti waliwo ebirungo ebibulamu.
Tekako buli kadde ebigimusa ebigule mu bipimo ebitono ng‘okola obukutu obutono mumassekati g‘ennyiriri okusobozesa ebirime okufunamu ekyenkanyi. Wewale okweyambisa urea emyezi 2 nga tonnakungula kuba nitrogen omungi aletera obumonde bwobulungulu okugonderera. Tekako potassium oba evvu ly‘embaawo okugumya ebikuta byobutungulu kunkomerero ssaako obusa oba nnakavundira okusobozesa ettaka okugonda kisobozese amazzi okuyingira n‘ekirime okukula obulungi.