Omubisi gwe gumu ku bintu eby’amakulu mu kulunda enjuki n’okukungula obulungi omubisi kikulu nnyo mu kukuuma omutindo gw’omubisi.
Nga tonnagenda ku lugendo lw’okukungula omubisi, sooka oyambale ekyambalo ky’okwekuumisa ekikuyamba okukukuuma obutalumwa njuki. Funa akuuma akafulumya omukka, bbulaasi ekuyamba okuggya enjuki ku bibokisi era funa ekyuma ekikozesebwa mu kubikkula omuzinga gw’enjuki.
Okuwakula omubisi
Bikkula omuzinga gw’enjuki olabe ebintu ebivaamu omubisi eby’embaawo ebijjudde omubisi. Lekamu ebitajjudde bulungi okusobozesa enjuki okumaliriza okubijjuza omubisi. Ng’omaze okuggyamu ebintu ebivaamu omubisi eby’embaawo, ddamu obikke omuzinga.
Teeka ebintu ebivaamu omubisi eby’embaawo mu wirubaalo obikkeko. Bitwale mu kisenge ky’okusunsula omubisi okuguwakula.
Kolokotako omutendera gw’ebiyumba by’enjuki okuva awali omubi nga okozesa kambe era oteeke ebintu ebivaamu omubisi eby’embaawo ebikolokoteddwa mu kyuma ekiwakula omubisi. Kino kiggya omubisi okuva mu biyumba.
Oluvannyuma lw’okuwakula, leka gukke ppaka wansi w’ekyuma ekiwakula. Sumulula taapu y’ekyuma okusobozesa omubisi okusengejjebwa obulungi okutuuka mu kalobo. Omubisi olwo gupakirwa mu macupa ne gusaanikirwa.