Engeri y’okukwatamu oba okulwanyisa ekika ky’obulwadde bw’olukuku obukuba ebiba ebya kitaka ku bikoola mu ngano n’ekirime ekya barley

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/managing-rust-diseases-wheat-and-barley

Ebbanga: 

00:16:34

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Atul Pagar, WOTR
»Obulwadde bw'olukuku obukuba ebiba ebya kitaka ku bikoola busaasaana buyita mu mpewo era busobola okukwata amangu ebirime mu budde obuweweevu era obw'enkuba. Okumanya oba ekirime kyo kirumbiddwa obulwadde bw'olukuku obukuba ebiba ebya kitaka ku bokoola, yisa olugalo lwo ku bikoola ebirumbiddwa okualaba oba olufufugge olwa kyenvu, kitaka oba oluddugavu lukwata ku ngalo zo. Nga okozesa enkola ez'obutonde, ojja kusobola okukuza ebirime biramu, okufuna amakungula amangi era ofune amagoba amangiko.«

Engano n’ekirime ekya barley biri mu birime eby’omugaso eby’empeke mu nsi yonna, wamu n’omuceere ne kasooli, naye bikosebwa endwadde z’olukuku ezikuba ebiba ebya kitaka ku bikoola ekikendeeza amakungula.

Okusobola obulwadde buno osimba bika bya kirime ebitalumbibwa bulwadde obwo. Ebika bino bikendeeza ku kulumbibwa kw’obulwadde buno. Okuteeka eddagala ku nsigo kitangira ensigo okulumbibwa obulwadde bw’olukuku obukuba ebiba ebya kitaka, era kya mugaso okukuza ebimera ebiramu. Osobola okusiiga ensigo omusulo gw’ente oba obusa ku nsigo z’ebirime. Okusiiga ku nsigo eziweza kkiro emu, tabula omusulo gw’ente ekitundu kya ggiraasi mu kikopo kimu eky’obusa ente bwe yaakafuluma. Nnyika ensigo mu lutabu olwo ozaanike mu kasiikirize nga tonnaba kuzisimba. Ensigo era ziyinza okusiigibwa ekika ky’obutiko obumanyiddwa nga trichodema.

Okuziyiza obulwadde buno mu nnimiro

Bulijjo lawuna era olondoole obulwadde bw’olukuku obukuba ebiba ebya kitaka ku bikoola nga obudde buweweevu oba nga bwa nkuba. Mu nnimiro, osobola okufuuyira olutabu olw’obutonde olw’ekitiko ekimanyiddwa nga trichoderma oluvannyuma lwa wiiki ssatu nga osimbulizza.
Osobola okwekolera eddagala ery’obutonde eritta obulwadde bw’olukuku nga ogatta olubatu lumu olw’obusa bw’ente, ekitundu kya liita ey’omusulo, embatu bbiri ez’ebikoola by’omuti oguyitibwa neem obitabule mu liita kkumi ez’azzi. Olutabu olwo lukuumire mu kasiikirize okumala ennaku bbiri oluvannyuma osengejje. Okufuuyira ekitundu kya hectare oba yiika emu n’ekitundu, olutabu olusengejjeddwa lutabulemu liita z’amazzi bibiri mu ataano, ofuuyire ku makya oba olweggulo.
Mu mbeera nga byonna ebyo waggulu biremye, fuuyira nga okozesa amata agafudde ne gaterekebwa ennaku wakati w’ekkumi ku kkumi na ttaano. Okufuuyira ekitundu kya hectare oba yiika emu n’ekitundu, tabula liita musanvu ez’amata agafudde mu liita bibiri mu ataano ez’amazzi ofuuyire.
Osobola era okugatta ekitundu ky’ekibaafu ekya doodo omumyufu omukalu asekuddwa, omuddo oguyitibwa mminti oba ebikoola ebizzaamu omusaayi biyite hibiscus, bitabule mu liita bibiri mu ataano ez’amazzi. Bitereke bisulewo obisengejje osobole okufuuyira olunaku oluddako era oddemu oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano.  
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:33Engano n'ekirime ekya barley biri mu birime eby'empeke ebisinga omugaso mu nsi yonna nga biri wamu n'omuceere ne kasooli, naye birumbibwa obulwadde bw'olukuku obukuba ebiba ebya kitaka ku bikoola ekintu ekireeta okufiirizibwa.
01:3402:03Abalimi bangi bakozesa ddagala okufuuyira obulwadde bw'olukuku. Eddagala lino si lya bbeeyi kyokka wabula terikola bulungi ate nga lya bulabe eri abantu n'ebitonde ebitwetoolodde.
02:0403:30Okubeerawo kw'obulwadde n'okubuzuula.
03:3104:20Ekirwadde ky'olukuku ekikuba ebiba ku bikoola by'ekirime butambulira mu mpewo okuva ku muntu okudda ku kimera ekiramu era bukwata mangu nnyo mu budde obuwewevu.
04:2104:49Okubulwanyisa osimba bika bya kirime ebitakwatibwa bulwadde obwo.
04:5006:10Okuteeka eddagala ku nsigo kizitangira obulwadde bw'olukuku obukuba ebiba. Kino kisobola okukolebwa nga osiiga ensigo omusulo gw'ente n'obusa bwazo.
06:1108:03osobola okuteeka eddagala ku nsigo nga ogula eddagala ly'ekitiko ekiyitibwa trichodema erigulwa mu maduuka g'abalimi.
08:0408:57Mu nnimiro, osobola okufuuyira eddagala lya trichodema mu bbanga lya wiiki ssatu okuva lwe wasimbuliza.
08:5811:04Osobola okukola era n'ofuuyira eddagala lyo ery'obutonde erirwanyisa obulwadde bw'olukuku nga olikola mu busa, omusulo gw'ente n'ebikoola by'omuti oguyitibwa neem.
11:0511:59Nga olondoola ebimera ebiteetaagisa mu nnimiro wamu n'ebitonde ebyonoona ebirime, noonyereza ne ku bulwadde bw'olukuku obukuba ebiba wamu n'endwadde endala. Ekirime kyo kirondoole entakera mu budde bw'obunnyogovu n'obw'enkuba.
12:0013:06Singa ebyo byonna waggulu birema, kozesa amata agafudde okuziyiza obulwadde obwo.
13:0714:09Osobola era okukozesa ebikoola ebisekule ebya doodo omumyufu, omuddo gwa mminti oba ebikoola ebizzaamu omusaayi ebiyitibwa hibiscus.
14:1016:34Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *