Engeri y’okulimamu ekika ky’ebijanjaalo ekiyitibwa long bean mu ngeri eza amagoba.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=3qW7i7X91XE

Ebbanga: 

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Asian Garden 2 Table
Ekika ky'ebijanjaalo ekiyitibwa long bean oluusi kiyitibwa long yard oba asparagus. Ze zimu ku nva endirwa eza Asia zoteekeddwa okuba nazomu nnimiro y'ewaka. Okulima ebijanjaalo ekika kino kwangu nnyo ateera kunyuma.Ebijanjaalo ekika kya long bean birina ekikuta n'empooma yanjawulo okusinga ekika kya green bean.

Ebbugumu eriri waggulu wa 50 F, ensigo z’ebijanjaalo bya long beans bisobola okumera emittunsi. Mu wiiki, ebijanjaalo ekika  kya long bean bimera akakola. Okusobola okwetaba mu sizoni y’okulima, okusooka okusimba ensigo  zokka awantu munda  kukubirizibwa nnyo.

Siga ensigo z’ebijanjaalo bya long bean mu kintu wezisooka okusimbibwa, mu ttaka ettono ate nga liwewevu era tofuukirira nnyo kubanga ekika ky’ebijanjaalo kino tekisobola kuggumira kubiririra kwa mazzi.
Okusimba  ebijanjaalo ekika kya long beans
Okusinzira ku bbugumu, kiyinza okutwala wiiki wakati wa 2 ne 3 okumera mu buwanvu bwa fuuti 1era ojja kulaba ebimera nga bimera
Bijja kwetaaga okusimbuliza amangu ddala, oba ebikoola bijja kwegatta wamu olwo bibikkire ebigimusa munda mu ttaka.
Saasaanya ebigimusa ebitali bya butonde era obitabule n’ettaka ly’okungulu, teekamu endokwa mu nnyiriri nga birina fuuti 1.  Ebbanga mw’osimbira lisinzira ku buwanvu bw’olukomera,  amabanga mu nnyiriri n’essaawa omusana wegwakira.
Sima ekinnya era obibikkire mu ttaka . Fuukirira endokwa bulungi oluvanyuma lw’okusimbuliza. Bwoba weyambisa enkola y’okufuukirira kwa matondo gikozese.
Okusimba wabweru
Bweriba ebbugumu ly’ebweru lisukka 60 F, ebijanjaalo ekika kya long bean bijja kukulira ku mutendera ogwa waggulu. Mu wiiki esooka, ebirime bijja kuwanvu era binoonya mangu bye birandirako, n’olwekyo olina okuzimba olukomera , era biteeke busimba ku lukomera.
Sibako akaguwa ku muti waggulu, kasike katuuka ku muti mu makati awo okolewo empulutirizo omulundi gumu, yongerayo akaguwa okutuuka ku kimera, wano kolawo empulutirizo nga eragayamu ku nduli obisibe  wamu  n’ekimera.
Emirundi egisinga ebimera okubeerako kimu oba bibiri ku kaguwa  kiba kirungi. Ggyako ebimuli byonna oba emittunsi egiri mu bbanga lya fuuti emu, kino kijja kusobozesa ebiriisa okugenda ku kimera ky’ennyini n’okumera ebibijanjaalo ebingi ate ebiri ku mutindo.
Okumulisa
Ekimera ky’ekika ky’ebijanjaalo ekya long bean kikula mangu nnyo. Ebimuli bitandika okugejja nga bivira ku kimera ky’ennyini, buli kikoola kumpi kibaako ekimuli, ate mu budde bwe bumu n’ekimuli,  era ebimera bibiri oba kimu nabyo biba bikula 

Ng’osalidde bulungi, osobola okuleetera ebijanjaalo byo ekika kya long bean okumera ebijanjaalo ebingi. Teereka ebikoola bibibri oba bina ku bimera eby’ebbali era oggyeko obusongezo. Ekimera ekikulu bw’ekituuka waggulu ku lukomera, ggyako era obusongezo. Buli lw’olaba ekimera ekipya, kiggyeko akasongezo. Fuba okulaba ng’okikola mu bwangu obw’ekitalo, naye tekirina kuba kikolebwa bulungi. Mu bwangu ojja kuba olaba ebimera ebiri ebbali nga bimera bimulisa nabyo. Mu kiseera kye kimu, ekika ky’ebijanjaalo ebiyitibwa along beans bitandika okulanda okuva wansi ku kakomera.
 
Okuteekamu ekigimusa
Saasaanya ekigimusa ekitabuddwa bw’ekiti 10:10:10 okulirana emirandira gy’ekimera, kitabule bulungi n’ettaka ly’okungulu era wano ebijanjaalo bya wansi bijja kuba bisobola okulondwa. Ekigimusa kijja kuyamba ebijanjaalo by’omu makati okukula nga binene. Mu ngeri y’emu ebijanjaalo by’omu makati bwebiba bituuse okulondwa, saasaanya ekigimusa ekirala okusobozesa ebijanjaalo  ebiri waggulu okukula okuva nga biviira ddala wansi okutuuka waggulu.
Ebijanjaalo bya wansi biba bikuze bulungi era nga bisobola okulondebwa, ebijanjaalo bya wakati biba bitono era bimulisa waggulu. Singa ebijanjaalo ekika kya long beans tebabisalira ebimera bikula nnyo, ebimera eby’ebbali biba biwanvu nga nga tebimulisa ku ngulu, ebimera bikula nga tebitegerekeka, biba bisaakativu nga bingi n’olwekyo ebijanjaalo bikula nga bitono ate nga bimpi.
Bw’osalira obulungi n’oteekamu ekigimusa bulungi, ebijanjaalo ekika kya long bean bisobola okwongera okukuwa ebijanjaalo ebiri ku mutindo okumalira ddala wiiki 4 nebiryoka birekeraawo. Ebijanjaalo bifuuka bitono nga bipimi, ebikoola bitandiika okufuma n’obutaddamu kumulisa. Ku mutendera guno, nkukubiriza okuggyamu ebimera osobole okukuuma ebbanga ly’enva endirwa endala zisobola okukubeezawo.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Ekika ky'ebijanjaalo kya long bean oluusi kiyitibwa long yard bean oba osparagus. Kye kimu ku kika ky'enva endirwa za ba Asia ky'olina okuba nakyo mu nnimiro.
00:311:30Ebbugumu bwe libeera lisukka 50 F, ensigo z'ekika ky'ebijanjaalo kya long bean zimerukira mu wiiki n'ezimera obukoola.
01:3202:32Saasaanya ekigimusa ekitali kya butonde era okitabule n'ettaka ly'okungulu, teeka endokwa mu nnyiririr mu bbanga lya fuuti 1. Amabanga g'ekimera gasinzira ku buwanvu bw'olukomera, amabanga agalekeddwa mu nnyiriri n'essaawa omusana bwezimala.
02:3303:33Singa ebbugumu wabweru lisukka 60 F, ebijanjaalo ekika ekiyitibwa long bean bijja kulirawo amangu ddala.
03:3404:34Ekimera kya long bean kikula mangu nnyo. Ebimuli ebimu bitandiika okugejja okuvira ddala ku kimera ekikulu, kumpi buli kikoola kimulisa.
04:3505:38Saasaanya ebigimusa ebitabuddwa 10:10:10 okuliraana emirandira gy'ebijanjaalo ekika kya long bean, bitabule nga wegendereza n'ettaka ly'okungulu era wano ojja kuba olonda ebijanjaalo by'okungulu. Ekigimusa kijja kuyamba ebijanjaalo bya wakati okugejja.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *