»Engeri y’okulimamu ekirime kya kale«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=1v-2uxSR6I4

Ebbanga: 

17:51:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

The Ripe Tomato Farms
»Ekirime kya kale! Ekirime ekimanyiddwa nga "eky'enkomeredde" mu nva endiirwa! Ekirimu ebiriisa era ekiwoomu, ekirime kino ekiri mu luse lw'emboga kigumira nnyo embeera y'obudde enzibu era kyangu nnyo okulima. Kiwooma okusinga ebirime ebirala bwe biri awamu mu luse lw'emboga gamba nga; broccoli, cauliflower, brussels sprouts. Kale kirime ekyasukka okubeera ekyangu okulima kubanga tubeera tulima bikoola byokka. Waliwo ebika nkumu ebya kale by'oyinza okulima, era byonna bisinga kulimwa nnyo mu ngeri yeemu. Mu katambi ka leero, tujja kutambulira ddala olugendo okuva ku busigo obusirikitu obwa kale okutuuka ku makungula, nga tulaba buli kimu ekibeera wakati awo!«

»»Engeri y’okulimamu ekirime kya kale«

Olw’okubeera ekirime ky’enva endiirwa ekirina ebikoola ebingi ekijjudde ebiriisa naddala vitamiini, enkula ya kale n’engeri gy’abalamu esinziira ku magezi ag’ekikugu g’okozesa nga omulima. 
Kale birime ebigumira embeera y’obudde enzibu, birina ebikoola bingi, birimu ebiriisa eby’enkizo, vitamiini, biziyiza ebiri mu mubiri okufuukamu ebirala olw’okubeerawo kw’omukka ogw’obulamu oguyitibwa oxygen, era bisaana ebyetooloddewo ebirungi okusobola okukula. Kirime ekiri mu luse lw’emboga ekigumira embeera y’obudde enzibu era ebikoola ebyomumakkati tebbyewumba kukola kyefaananyirizaako ng’ekimuli, era bwe kikula, ebikoola biggibwako mu ngeri y’okubikungula emirundi n’emirundi.
  Endabirira y’ekirime kya kale
Ekisooka, simba ekirime kya kale omulundi gumu mu mwaka, era ng’osimba, simba mu mmerezo oluvannyuma simbuliza obisimbe mu nnimiro eteregamamu mazzi, erimu ettaka eggimu eritali lya lunnyo. Teeka ettaka ettabule ku nsaniya ensigo kwe zimerera, lifukirire olireke okumala essaawa bbiri.
Mu ngeri yeemu, sima ebinnya mu ttaka bya buwanvu bwa kitundu kya yinci oteekemu ensigo nga bw’opima ebbugumu lya ddiguli abiri mu musanvu zisobole okumera mu nnaku kkumi na musanvu. Nga wayise wiiki bukya bimera, kendeeza ebbugumu kasita ebikoola byennyini bitandika okulabika oluvannyuma oteeke endokwa ezikula amangu mu bisuwa ebirala nga tonnaba kubisimbuliza kubizza mu nnimiro yennyini oluvannyuma lw’emyezi ebiri.
Endokwa zifulumyeko ebweru ozimanyiize embeera y’obudde nga bw’oteekateeka ennimiro era oluvannyuma, simba era ofukirire endokwa nga tonnaba kusimbuliza era oddemu nga omaze okusimbuliza n’okubikka. Teekamu ebigimusa omulundi gumu buli mwezi era n’ekisembayo noga oba sala ebikoola nga wayise wiiki munaana bukya osimbuliza, nga otandika na bikoola ebya wansi. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:09kale kirime ekibaza ebikoola ebingi era ekigumira embeera y'obudde enzibu, ekyetaaga ebyetooloddewo ebirungi okukula.
01:1001:27Kirime ekigumira embeera y'obudde enzibu eky'oluse lw'emboga era ebikoola ebyomumakkati tebyewumba kukola kyefaananyirizaako kimuli.
01:2802:30Nga ekirime kikuze, ebikoola bilalwako oba okunogebwa emirundi n'emirundi.
02:3103:39Ekirime kya kale kisimbe omulundi gumu mu mwaka.
03:4004:20Simba mu mmerezo oluvannyuma osimbulize nga ozza mu nnimiro.
04:2104:42Ettaka lirina okuba nga teriregamya mazzi, ggimu era ngasi lya lunnyo.
04:4306:09Ettaka ettabule liteeke mu ttule ensigo mwe zimerera, lifukirire era olireke okumala essaawa bbiri.
06:1006:22Sima ebinnya mu ttaka oteekemu ensigo.
06:2306:39Kuuma ebbugumu nga liri ku kipimo kya ddiguli abiri mu musanvu bisobole okumera mu nnaku kkumi na musanvu.
06:4006:53Nga wayise wiiki oluvannyuma lw'okumera, kendeeza ebbugumu singa ebikoola ebituufu bimera.
06:5407:29Endokwa ezikula amangu ziteeke mu bisuwa ebirala.
07:3007:51Oluvannyuma lw'emyezi ebiri, endokwa zitwale mu nnimiri.
07:5208:40Okukungula kukolere mu mbeera y'obudde obuweweevu nga wayise wiiki munaana bukya osimba.
08:4109:17Endokwa zifulumyeko ozimanyiize embeera y'obudde nga tonnazisimbuliza kuzisimba mu nnimiro,
09:1811:56Teekateeka ennimiro era osimbe ekirime kya kale.
11:5712:24Fukirira endokwa nga tonnaba kusimbuliza era nga omaze okusimbuliza,
12:2513:06Oluvannyuma lw'okusimbuliza, sooka obikke olyoke ofukirire.
13:0713:56Teekamu ebigimusa omulundi gumu buli mwezi.
13:5714:11Sooka kunoga oba kusalako ebikoola ebya wansi, ebirabika era ebikulu.
14:1214:50Nga kimaze okumulisa, kiggye mu nnimiro.
14:5115:15Ebiwuka ebirumba ekirime kino mulimu ebiwojjolo ebirumba emboga, n'obuwuka obunuuna amazzi mu birime obuyitibwa aphids.
15:1617:51Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi