Ennyaanya kirime kya kyeeya era kyamugaso no nga kirina emigaso ku bulamu wabula okukirima kyetaaga ettaka nga gimu era nga lilegamya amazzi okumala akaseera ate era nga lirimu emikutu ekitambuza amazzi.
Waliwo ebika by‘ennyaanya ebiwerako nga byawukana mu neyiisa okugeza ezimulirisiza ku ntandw y‘amatabi era zikungulwa ekiseera kitono wabula ate waliwo nekika ekirala ekisasizaako ku matabi era nga zino zitwaala akabanga nga zikungulwa. Bwoba olima ennyaanya mu nasale, akalimiro okasitulamu 15cm okuva wansi okwewala endwandde ezibeera mu ttaka era nokuyamba okutambuza amazzi.
Ebikulu okugoberera
Kozesanga ensigo enongoseemu kubanga kiyamba ku buwangaazi nga oziterese, kyanguyiza okuzongerako omutindo, zigumira endwadde era nokuyamba abalimi okufuna ebbeeyi enungi mu katale nolwekyo oyinza okunsimba empeke yinyini mu nimiro oba okusooka okuzikuliza mu beedi.
Mukwongerako, beedi gibikke okwewala amazzi okufumuuka era ofukirire buli lunaku okwewala ebimera okuwotoka, kuno ozaako kukebera meruka y‘ensigo oluvanyuma lw‘enaku 8 olwo nozisimbuliza nga wayise omwezi gumu okuva lwozisimbye. Wabulasimba mu miteeko egisingagana wiiki 2 okwanguya okukungula mu mitendera.
Okwongerako, okusimbuliza kulina okukolebwa nobwegendera nga wewala okumenya endokwa era osimbe ku lunaku lwelumu lwozigya mu beedi engeri gyezibeera engonvu. Kino kikolebwa okwewala okuwotoka nokuddirira.
Mukumaliriza, enimiro gitekemu nakavundira oba obusa nga osinzira ku bugimu bw‘ettaka okwongera kumutindo era oluvanyuma lw‘emyezi 2 nga osimbuliza, zikoole okwewala omuddo okulwanira ebiriisa nokuyamba okugyamu awazalirwa obulwadde.