»Engeri y‘okulimamu ennyaanya ekitundu kya 2«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=TzeCjDDGCg8&t=4s

Ebbanga: 

00:08:12

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

royaldreamtv
»Enkola esinga obulungi nga olima ennyaanya; ebika, okukola beedi, okusimbuliza, okulwanyisa endwadde n‘ebitonde ebyonoona ebirime, okukungula«

Ennyaanya nva ndirwa ezirimibwa okwetoloola ensi kulwemigaso eri obulamu wabula zino zokosebwa ebintu ebiwerako wamu n‘endwadde ezisobola okwewalibwa nokulwanyisa amangu.

Endwadde ezisinga okutawanya ennyaanya mulimu kiwotokwa, blight, tomatomato mosaic,tomato yellow curl leaf virus ne mildew. Ku luuyi luli, ebitonde ebirala ebitawanya ennyaanya mulimu; aphids, cut worms, leaf miners, ball worms, thrips, ensowera, n‘obusanyi, nga bino byangu okulwanyisa okusobola okufuna amakungula amalungi. Okusobola okukula obulungi, ennyaanya zetaaga ekirungo kya nitrogen, phophorus, potassium, calcium ne magnesium. Fuyira ne ddagala eririmu ebirungo nga opper hydroxyl, metalayxl ne mancozeb

Okukakasa nti ofuna amakungula amangi.

Kakasanga nti ebimera tebikosebwa nga okoola kubanga kiyinza okuziletako amabwa agayinza okuyitbwamu endwadde era kozesa ebiveera ebibikka okusobola okuziyiza omuddo okumera olwo otekemu ebigimusa nga bwebiragirwa nga omaze okukoola okusobola okuzaamu obugimu mu ttaka.

Okwongerako, kebera ettaka nga tonaba kutekamu birime okulaba obugimu wamu nobungi bw‘olunnyo (pH) era olwanyise endwadde n‘ebiwuka okugeza nga okozesa amazzi omu eddagala. Okwongerako, jjanjaba ettaka okutta obuwuka n‘endwadde ebibeera mu ttaka era otekemu eddagala eryatongozebwa eririmu ebika ebitta endwadde nga engeri y‘okwewala endwadde ate era nga enderi y‘okuvumula ebirime ebiba bikwatidwa obulwadde.

Era wetanire okukyusakyusa ebirimibwa mu nimiro, okoole nga enimiro, ogyemu ebimera ebilwadde wamu nokulwanyisa endwadde amangu okusobola okukutula olujjegere olutambuza obulwadde wabula okufuyira kulina kukolebwa nga bwekulambikiddwa buli wiiki 2 okukakasa nti olwanyisa ebiwuka n‘endwadde nga bukyaali, nekisembayo Kungulira mu mitendera buli luvanyuma lwa wiiki okubeera nga ofuna sente buli kiseera okumalako sizoni.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:24Kakasa nti ebimera tebikozebwa nga okoola era okozese ebiveera okubikka.
00:2501:50Tekamu ebigimusa mu bungi obulagirwa nga omazze okukoola.
01:5102:04Ennyaanya zetaaga nitrogen, phosphorus , potassium, calcium ne magnesium .
02:0503:20Kebera ettaka nga tonasimba, lwanyisa endwadde z‘ennyaanya ezabulijjo n‘ebintu ebirala ebyonoona ennyaanya.
03:2104:27Ettaka lijjanjabe nga tonasimba era otekemu eddagala eririmu ebirungo
04:2805:14Ebisinga okwonoona ennyaanya mulimu; aphids, cut worms, leaf miners, ball worms, thrips, ensowera, n‘obusanyi.
05:1507:07Nyikira okyusakyusa ebirimibwa mu nimiro, okuume enimiro nga temuli muddo, ogyemu ebimera ebirwadde era olwanyise endwadde mangu
07:0807:32Fuyira eddagala ly‘ebiwuka nga lirimu ekirungo ekitta buli luvanyuma lwa wiiki bbiri.
07:3307:51Kungula mu miteeko gya buli wiiki.
07:5208:12Okusiima.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *