»Engeri y‘okulimamu enva endirwa mu bukutiya«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=U2ZrkYxcFFA

Ebbanga: 

00:14:08

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2013

Ensibuko / Omuwandiisi: 

LWD COM
» Okulima enva endirwa mu bukutiya kyakatandibibwa mu bulimi. Eri abalimi abalina ettaka lyokulimirako nga ttono, eno enima empya etukiridde naddala eri abo ababeera mu bitundu ebikosebwa ekyeeya.«

Okulima enva endirwa mu bukutiya kikuwa amakungula amangi nga okozeseza amaanyi n‘obudde butono, kyekimu ku bivaamu ensimbi eri abalimi, enva ezenjawulo zisobola okulimibwa mu kutiya emu ate nga kisoboka ku nkuba ne ku musana.

Waliwo ebikozesebwa ebyenjawulo ebyetagiisa era nga mulimu; amayinja, ettaka, evu ly‘obukutta obussa oba kalimbwe. Amayinja gayamba ettaka obutaguba wamu n‘amazzi okutambula obulungiate nga amabanda gakekereza ku mazzi kubanga gaziyiza okutonya wamu nokufumuuka ekikuuma ettaka nga bisi okumala olunaku lumu oba bbiri.Kyusakyusa byolimira mu kutiya okwewala okutambuza obulwadde era ekutiya enkadde ozikyuse

Enima y‘enva endirwa mu kutiya

Okusooka teeka amayinja wansi mu kakutiya kuba kiyamba ku kutambuuza amazzi era nokufuula ettaka ekunkumufu bwomala otabule ettaka, evu n‘obusa bulungi. Kuno ozaako kuteeka bisubi bikalu ku mayinja olwo noteeka ettaka eritabuddwa mu bukutiya naye tokattira.

Okweyongerayo, kuba obutuli nga bweyawudde 10cm ku mabanda mu ngeri ya zigizaga okusobozesa amazzi okutambula obulungi okutobya ettakaolwo amabanda ogateke wakati 10cm okuva wansi okuziyiza amazzi okuyitamu obuyisi.

Osimba kungulu ne mumbirizi mwekutiya , olwo ozaako kufikirira nga oyiwa amazzi okuva mu bakuli buli ku makya, wabula ku ntandikwa amazzi gayiwe ku bimera ne mu mabanda okuyamba okukola emirandira emirungi.

Mu kusembayo, nga enva zimeze neziwanvuwa, akakutiya okusaikamu noyongeramu ettaka era simabmu ebikolo 4-5 mu buli kutiya bisobole okuba n‘amabanga agamalaokusobola okukula obulungi, bwoba ebisimbuliza nga bikulu ebikoola bisaleko okusobola okuguma.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:53Okulima enva endirwa ku bukutiya
01:5402:07Ebikola: amayinja, ettaka, evu, obusa bw‘ente oba kalimbwe w‘enkoko
02:0803:27Teeka amayinja ku ntobo y‘ekutiya era otabule ettaka, evu n‘obusa bulungi.
03:2804:22Teeka ebisubi ebikalu ku mayinja olwo oyiwe ettaka eritabuddwa mu kutiya ate tolikatira.
04:2305:24Kuba obutuli obotono ku mabanda nga bwewadde amabanga ga 10cm nga buli mu zigizaga era amabanda ogateke wakatu mu kutiya 10cm okuva wansi.
05:2506:01Ebimera bisimbe ku ngulu ne mumbirizi mw‘ekutiya nga oyiwako ebbakuli y‘amazzi buli ku makya
06:0207:26Okufukirira n‘amabanda kikekereza amazzi. Kyusakyusa ekika kyenva zolimiria mu kituya.
07:2708:04Obultiya obukadiye bukyuse, funa okusomesebwa okuva eri abalala era amagezi ogakozese. Akakodyo kakola nnyo.
08:0509:54Akakodyo kasoboka ku nkuba ne ku musana ate nga kyetagisa ettaka ne sente bitono
09:5510:26Enva bweziwanvuwa obukitiya obunyenyanyenya noyongeramu ettaka, ebika by‘enva endirwa ebyenjawulo bisobola okulimibwa.
10:2712:22Simba ebikolo 4-5 mu kutiya emu okusobaola okuziwa amabnga agetagiisa, ebika ebyenjawulo bisobola okulibibwa mu kutiya emu.
12:2313:40Bwoba nga osimbuliza bimera bikuze, bisaleko ebikoola era ofukirire ku kikolo kwenyini wamu ne mumabanda ku ntandikwa.
13:4114:08Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *