»Engeri y‘okulondamu ekifookyo eky‘okusimamu ebidiba by‘ebyenyanja ekirungi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Le3ufCWlDBc

Ebbanga: 

00:08:40

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

munalaFISH
»Okumanya okusalawo okulungi nga olonda ekifo awagenda ekidiba ky‘eby‘enyanja ky‘amugaso nyo. Kikutaasa okufiirizibwa sente nyingi, obudde, era kitangira okwejjusa mumaaso«

Okulonda ekifo obulungi wamu n‘okuteeka emitendera gyonna munkola omulimi asobola okufunamu nyo mukulunda eby‘enyanja. Naye obutalonda kifo kituufu kijja n‘ebisoomoza bingi .

Ekifo ekisinga okugibwaamu amazzi g‘ebidiba by‘ebyenyanja mulimu obugga obutono, emigga eminene, nayikondo wamu n‘enzizi ensime, amazzi amalembeke okuva kumabaati. Kuuma ebidiba obutafiirwa mazzi nga okozesa ekiveera oba ebidiba bikole nga w‘eyambisa enkokoto .

Okulonda ekifo

Londa ettaka nga ly‘akaserengeto amazzi gasobole okuyingira wamu n‘okufuluma bulungi ekidiba awatali kusaamu maanyi.

Bulijo wewale ebitundu eby‘omuseetwe kubanga bino bireeta okulegama kw‘amazzi mukiseera ky‘enkuba enyingi.

W‘ewale ebituundu bw‘ensozi kubanga kikul‘etera okut‘ekamu amaanyi mukusima eky‘omutawaana eri abakozzi era n‘ebisenge biyinza okugwa mubiseera by‘enkuba enyingi.

Londa ekifo omutali mayinja manene, enjazi oba ebiyinja jinja.

Ettaka teriyina kubeeramu mafunfugu manji , omusenyu nga munji wamu n‘amayinja genkokoto kubanga bino birimu amabanga ekireetera okufiirizibwa kw‘amazzi.

Neera weeware okukozesa ebbumba kubanga lifuna enjatika ekireetera okufiirizibwa kw‘amazzi okuyita mukukuluguka.

Weewale ebituudu ebirimu emiti eminene egiyiiza okusemberera ebidiba era n‘emirandira giyinza okuvunda negikola emiwaatwa egiyinza okuwabya amazzi.

Weewale ebifo ebirimu enkuyege kubanga nazo zisima ebituli mu ttaka ekireetera amazzi okulukuta.

Wekaanye ekifo

Low‘oza ku by‘okweerinda, obutale era n‘okw‘anguyirwa okutuuka ku faamu kulw‘abaguzi okusobola okufuna ebivuddemu.

Neera lowooza ku miwendo gy‘abakozi kulw‘enteekateeka enungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:22ebigobererwa mukulonda ekifo ky‘eby‘enyanja.
01:2201:54Londa ekifo ekiri kukaserengeto.
01:5503:10Wewale okusima ekidiba mukifo ekiseeteevu wamu n‘ekyensozi.
03:1104:24Londa ekifo ekiyonjo, ekirimu amazzi amangi okuyita mu mwaka.
04:2504:42Kuuma ekidiba obutafiirwa mazzi mangi.
04:4305:12Londa ekifo ekitaliimu mayinja manene, enjazi n‘ebiyinja yinja
05:1305:41Ettaka teriyina kubeeramu mafunfugu manji , omusenyu nga munji wamu n‘amayinja genkokoto wamu n‘ebumba.
05:4206:41Weewale ebifo omuli emiti eminene, emirandira gy‘emiti, wamu n‘enkuyege.
06:4208:03Kakasa nti eby‘okwerinda birungi,obutale, okw‘anguwa okutuuka ku faamuwamu n‘emiwendo gy‘okusasula abakozi.
08:0408:40Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *