Okulunda emmale kufuna kiralu naddala eri abalunzi ate kyangu kya kutandiika kuba kyetaagisa ebyetaago bintono ddala gamba nga ebiddiba by‘amazzi ebya pulasitika, awava amazzi, amasanyalaze n‘omuddumu.
Okwongerezaako, waliwo emigaso mingi nnyo egiva mu kulunda emmale okugeza, ziwa omubiri amaanyi, kyetaaga kuyikula ttaka, zikula mangu, zirya ebintu bingi, zikulira mu mazzi agalimu omulamya(omukka gw‘obulamu) omutono, zisobola okuteekwamu nga nnyingi, zisobola okutundwa mu ngeri nyingi, ziri ku katale, ziwa abantu emirimu,ate zetaaga entandiikwa ntono nnyo.
Ebirina okuteekebwa mu nkola.
Emmale ziriise emmere erimu ekiriisa ekyegasa n‘ebirikiriza okusobola okufuna omutindo gw‘eky‘ennyanja omulungi.
Okwongerezaako, kakasa nti eky‘ennyanja okiriisa enfunda eziwera mu lunaku ate era ofuba okulaba nga zirya bulungi emmere yonna egwewo.
Mu kwongerako, ziwe emmere etamementuka okwewala amazzi obutayonooneka n‘okusigala nga mayonjo.
Ekisembayo, kozesa emmere enaasobola okukuuma amazzi nga mayonjo okwewala okuziriisa ekisukiridde n‘okulemya okumanya obuzibu obuli mu ndiisa yaazo n‘endwadde eziyinza okubalukawo.
Emmere y‘eby‘ennyanja.
Emmere etandikirwako, eno erimu ebiriisa ebitabuddwa obulungi era eweebwa emmale ku nga zikyali nto.
Emmere etengejja, eno mmere ya by‘ennyanja ebikuzibwa era erimu ebirungo ebiyamba okugezza emmale n‘ezifuna omugejjo.
Emmere ekuza, eno erimu ekirungo ekisikiriza ekiretera emmale okugirya n‘ezikula bulungi.