Ennyaanya ze zimu ku birungo ebikozesebwa ennyo mu kufumba mu buli maka mu Africa.
Obwetaavu bw‘ennyaanya bungi nnyo, naye nga tonnatandika bizinensi ya nnyaanya, salawo ku bungi bw‘oyagala okulima, ekiseera ky‘okulimiramu n‘akatale k‘oluubirira. Ettaka ly‘okulimiramu ennyaanya lirina okuba nga likkiriza empewo okutambula obulungi era nga temuli butwa. Y‘ensonga lwaki okukozesa enkola z‘okugimusa ettaka ezoobutonde zeetaagisa. Ennyaanya zisobola okukulira mu bika by‘ettaka eby‘enjawulo, naye ettaka ly‘olusenyu lye lisinga n‘olunnyo lw‘ettaka wakati w‘ettaano n‘omukaaga ekitundu.
Ebikozesebwa n‘ebiteekebwamu
Ebyuma n‘ebikozesebwa ebyetaagibwa bisinziira ku bungi bw‘oyagala okulima. Weetaaga ebikozesebwa/ ebyuma okuteekateeka ettaka, ebbomba, ebikozesebwa mu kufukirira.
Ebiteekebwa mu nnyaanya mulimu ensigo yaazo. Ennyaanya zaawulwamu ensakaativu, ezitawanvuwa nnyo n‘ezirandizibwa. Ebintu eby‘esigamizibwako mu kulonda ensigo kwe kubeerawo kw‘ensigo, obungi obwetaagibwa, obusobozi bw‘okulwanyisa endwadde n‘akatale akatunuuliddwa. Kakasa nti ogula ensigo ku batunzi abagundiivu era abakakasiddwa.
Ebigimusa byetaagibwa okukakasa obugimu bw‘ettaka n‘okukula kw‘ennyaanya okulungi. Ennyaanya zeetaaga ekirungo kya nitrogen, Phosphorous ne Potassium era birina okuteekebwamu okuyita mu bigimusa ne nnakavundira.
Eddagala erifuuyira ebirime lyetaagisa okwewala obuddo ogwonoonya ebirime.
Abakozi n‘akatale
Olina okufuna abakozi ab‘ekiseera we kyetaagisa. Emirimu egyetaaga abakozi mulimu okusimba ensigo, okusimbuliza, okuteekamu ebigimusa, okuteekawo obuti ebimera kwe birandira, okukabala, okukungula n‘ebirala.
Waliwo akatale kanene ak‘ennyaanya ng‘abaguzi mulimu abantu ba bulijjo, abafumbi, ebirabo by‘emmere, abongera omutindo ku mmere, ssemaduuka n‘obutale obw‘amaanyi mu ggwanga.