Ng‘omaze okukama n‘ekyuma teeka amabeere g‘ente mu mukebe ogulimu eddagala erijjanjaba ebbanyi (mastrite), eddagala likola nga iodine. Nga tonnakozesa kakebe akalimu eddagala ly‘ebbanyi ku nsolo sooka ogezese olabe oba ente erwana olwo oteeke ennywato z‘ente mu kakebe ng‘ogiva mabega.
Nyiga wansi w‘akakebe ng‘ova wansi okusobozesa eddagala eriri mu kakebe okusindikibwa waggulu.
Endabirira y‘ennyana
Endabirira y‘ennyana etandika tezinnazaalibwa okutuuka we ziggibwa ku mabeere.
Okutendekebwa ennyo ku ndabirira y‘ennyana ku balunzi b‘ente z‘amata kulina okwettanirwa ennyo okuggyawo ebibi ebiva mu kuzaala n‘okuzaala ennyana ezifudde.
Okuzaala ennyana
Kuuma ebiwandiiko ebikwata ku nte era ozikebereko nnyo nga ziri kumpi kuzaala.
Okuzaala kw‘ente okwa (anterior birth) y‘emu ku ngeri ennyana gye zizaalibwamu nga amagulu g‘omu maaso ge gasooka okufuluma olwo ne kuddako omutwe. Enzaala ya (posterior) y‘engeri ennyana bw‘esoosa amagulu ag‘emabega nng‘obulinnya butunudde waggulu.
Singa ente ebeerawo okusukka essaawa ttaana nga tennazaala eba yeetaaga okuyambibwako.
Endiisa y‘ennyana
Ennyana erina okuyonka maama waayo lwakiro ebbanga lya nnaku ssatu nga ente yakazaala olwo ente oziteeke mu bibinja okusinziira ku myaka gyayo era ozigabirire n‘amata.
Amata galina okuziweebwa nga gali mu nnywanto, mu ccupa oba okuzitandisa okunywera mu malobo.
Wakati wa wiiki 2 ku 3 ezoobukulu era oziwe emmere erimu ekirungo kya roughage eky‘omutindo ekisobola okuteekebwako emmere erimu ebirungo eby‘enjawulo. Mu kukozesa omuddo omukalu kakasa nti gwa mutindo gwa waggulu, muweweevu era nga gugattiddwamu emmere egatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka.
Okwetendeka
Ennyana erya okutuuka ku bitundu 10% eby‘obuzito bwayo okumala nga wiiki mukaaga.
Okwenyigira mu nkola y‘okwetendeka okuyita mu kutendekebwa okubeera ku terefayina, ebiwandiikibwa mu mawulire nga bikwata ku nte n‘ebiwandiiko ku mitimbagano okwongera ku mutindo.