Obumyu obwakazalibwa bubeera bwakwegendereza nolwekyo entekateka erina okukolebwa nga akamyu tekanazaala okwongera ku mikisa gyokukula.
Akamyu kayinza okutandika okuzaala ku myezi 6 okuva kukika ekyobutono paka kwobwo obwekigero okugeza nga akamyu a kaeeru aka NewZealand ate nga obumyu obunene nga chinchila buzalira myezi 8 ku 9. Obumyu bumala n‘olubuto okumala enaku 28 ku 30, naye nga zitera kuba naku 21 era akamyu kazaala wakati w‘obumyu 1 ku 14 naye oluzaala olusooka kayinza kuwa 6 ku 8. Obusooka okuzaala buyinza okulemererwa okulabirira obwana nolwekyo olina okakasa nti obukuuma nga bulina ebbugumu nga bulidde bulungi.
Entekateka nga tebunazaala.
Bwoba osubira akamyu okuzaala, wetaaga okutekateka akasanduko mwekazalira okateke mu kayumba k‘obumyu nga wabula enaku 5 okuzaala. Bwoba okola akasanduko kano, kalina okuba 35cm obuwanvu, 25cm obugazi ne 12cm okudda waggulu, oteeke obukuta obuva ku bajiro wansi okusoba okunywa obunyogovu era okozese ebisubi ebikalu nga ebyokusulako.
Amazzi gateeke wala nakasanduko okwewala obumyu obutto okubbira mu mazzi.
Nga akamyu kamaze okuzaala, tewaliwo nnyo kyamanyi kikolebwa kubanga maama wabwo abulabirira. Olina kukebera kasanduko mwebazalide okugyamu obwooya nokukebera olubuto lw‘obumyu obutto oba lugejja wamu nokussa naye wewale okubukwatako bweikba tekyetagisa.
Bwoba osanze akamyu akato nga olubuto luguddeyo, wetaaga okukaka maama okukayonsa. Kitera okubeerawo nti akamyu kazaalira enaku 1 ku 3.
Singala nga olambula era bwewabaawo okafudde, okagyemu. Bwebiba nga ebyokulya tebimala, obumyu obuzadde bumanyi okutta obwana bwabwo nebubulya.