Newankubadde enkoko ziwa ennyama, amaggi, ensimbi, n‘ekigimusa eri abalimi waliwo emikisa mingi egy‘okwatiibwa obulwadde . Naye obulwadde bwa sotoka butta nnyo enkoko.
Obulwadde nga buzze,teri bujjanjabi era butta olwebeeya lwonna. Obulwadde bwonoona obwongo n‘enzisa y‘enkoko ate kavuna ekwatibwa ensingo ekyuka n‘ebiwawaatiro bisanyalala. Obulwadde buleetebwa enkoko ezirina akawuka ka sotoka n‘abantu.
Endabirira y‘obulwadde
Kubanga sotoka aziyizibwa wabula tawoona, okuziyiza kukolebwa nga baggya enkoko endwadde muzitali ndwadde n‘okuzigema naye nga eddagala erigema litandiika okukola obulungi oluvanyuma lwa wiiki. Mu kino goberera endagiriroy‘omukozi w‘eddagala ku ngeri y‘okukozesamu eddagala. Ng‘okozesa eddagala lino,litereke mu bunyogovu obuli wakati wa 2 ne 8 ate bwoba olitwala okulikozesa liteeke mu kintu ekinnyogogoga.
Mu ngeri yemu, kebera endagiriro eri ku kakebe k‘eddagala erigema n‘ eddagala eryeyambisibwa mu nkoko okugema omusujja ogukakkanya ku sotoka, sooka olumye enkoko enyonta ng‘ogyawo ebinyebwamu byonna ate bw‘ekiba kisoboka ziwe emmere enkalu. Eddagala okukola obulungi, gattamu ekijjiko ky‘amata g‘obuwunga kimu mu liita z‘amazzi 5.
Yawuzamu amazzi agalimu eddagala erigema nga ogateeka mu bikebe eby‘enjawulo era obiteeke mu bifo eby‘enjawulo. Eddagala erisabuluddwa lirina okuweebwa enkoko mu ssaawa bbiri. Naye ekipimo 1 ku 2 eky‘eddagala teekamu ettondo limu mu liiso ly‘enkoko ate ku nnaku ez‘ebbugumu eringi ennyo ziwere mu budde bw‘okumakya oba mu kifo eky‘ekisikirize. Yiwa eddagala erisigaddewo mu kaabuyonjo, yoza era oyonje ebikozeseddwa byonna oluvannyuma lw‘okugema. Zigeme buli luvanyuma lwa myezi 4 okusobola okuziyiza obulwadde buno. Ngomaliriza gyamu enkoko endwadde era era ezisigadde ozireke munda zirme kwetabika.