Ng‘okulya bw‘eri emu ku nsonga ez‘amakulu ezeesigamizibwako mu bulunzi bw‘enkoko, omutindo gw‘emmere gusinziira ku bukulu, ekigendererwa n‘omutendera gw‘enkoko ezirundibwa.
Era yeesigamizibwa ku bulamu bw‘enkoko okumanya obungi n‘omutindo. Ng‘okola emmere y‘enkoko, ebyetaagisa byonna birina okubaawo okusobola okuba n‘emmere ennungi ng‘erimu ebiriisa by‘enkoko.
Okukola emmere
Ekisooka, kozesa kasooli owa kyenvu okufuna enjuba za kyenvu ez‘omutindo mu ggi. Era kiyamba okuziyiza okufa nga nto. Kozesa layimu n‘entungo okuziwa amaanyi amangi n‘okukendeeza ku bunafu bwazo.
Okwongerako, gattamu cacu otabule bulungi ng‘okozesa ekitiiyo era oluvannyuma ogattemu soya mu kintabuli. Ekitabuli olwo kiteekebwa mu kyuma ekisa.
Ekisembayo gattamu ebirungo mu mmere era otabule ng‘okozesa ekitabula emmere ebeere nga efaanagana.