Eggi liyamba ku kukula kw‘akakoko akatannayalulwa, okuyita mu ndiisa ennungi n‘endabirira ennungi awo ebisusunku eby‘omuntindo bisobola okufunibwa.
Okweyongerayo, amazzi g‘eggi gayamba okukendeeza okwesunda kw‘eggi ate ekisusunku kiwa eggi enkula ennungi okukuuma ebirungo, wamu n‘ebibeera mu ggi. Okwongerezaako ekisusunku ky‘eggi kirimu ebirungo nga calcium carbonate, phosphorus, magnesium, organic matter, sodium, potassium, manganese, iron and copper.
Ebisinziirwako ekisusunku ky‘eggi okukolebwa
Obudde n‘obungi bw‘ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo ekifulumizibwa mu kisusunku, eggi gyerikoma okulwa mu kisusunku n‘ekisusunku gye kikoma okuguma.
Okwongerezaako endwadde, ezisiigibwa n‘ezitasiigibwa zikendeeza ku mutindo gw‘ebisusunku by‘amagi.
Mu kweyongerayo obukulu bw‘ekinyonyi, bulijjo ebisusunku by‘amagi binafuwa ekinyonyi gye kikoma okukula olw‘okukaluubirizibwa okutambuza ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo okuva mu magumba.
Ekirala eddagala nga eririmu ekirungo kya sulphur, amazzi ag‘omutindo ogwa wansi, emmere entono nabyo bikendeeza ku mutindo gw‘ebisusunku by‘amagi.
Endabirira y‘ebisusunku by‘amagi
Fuba okulaba ng‘ozimba ebiyumba by‘amagi ebirungi wamu n‘okugakwata obulungi mu kugakungaanya.
Okwongerako kakasa nti oziriisa emmere ya kasooli etabuddwamu soya era ogattemu obuyinjayinja obulimu ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo okusobola okwongera ku kirungo ekyo.
Mu kwongerako, teeka emmere erimu ekirungo kya ascorbic acid mu mmere y‘enkoko okusobola okukola ebisusunku.
Ekisembayo, ebinyonyi biriise emmere erimu ebirungo ebyetaagisa okugeza ekigumya amagumba n‘amannyo, manganese, copper okusobozesa okukolebwa kw‘ebisusunku.