Muwogo atwala nga mwaka mulamba okukula n‘okutuuka okusimwa. Okutobeka muwogo n‘ebimera ebirala nga kasooli kiyamba omulimi okufuna ku ssente oluvannyuma lw‘emyezi esatu.
Muwogo ayinza okutobekebwa n‘ebimera bingi omuli ebyo eby‘empeke ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka okugeza ebijanjaalo ebikulira ku ttaka, ssoya, kawo, n‘ebinyeebwa, eby‘empeke okugeza kasooli n‘ebimera ebirala ebibalira mu ttaka gamba nga lumonde. Okutobeka kasooli ne muwogo kikendeeza amakungula ga muwogo naye ekimera ekirungi okutobeka kikendeereza ddala ku kukendeera kw‘amakungula ga muwogo mu ekyo nti ssente ezifunibwa mu kimera ekitobekeddwa nnyingi okusinga ku ezo ezifunibwa mu muwogo yekka.
Ebyetegerezebwa mu kutobeka ebirime
Okutobeka kasooli ne muwogo, londa ebika bya muwogo ne kasooli ebikolagana. Muwogo alina okukula nga yeesimbye oba alina amatabi amasaamusaamu so nga kasooli alina okubeera nga abalira mu bbanga ttono ery‘ennaku nga kyenda.
Teeka ebigimusa mu ttaka eririmu obugimu obusamusaamu. Ettaka bwe liba bbi nnyo, sooka kussaamu bintu eby‘obutonde nga tonnaba kuteekamu bigimusa. Ebipimo by‘ebigimusa ebiteekebwamu ebikakasiddwa biri ensawo mukaaga eza kkiro ataano ataano ez‘ekirungo kya NPK biteekebwa mu kusimba, kungulu ne kuteekebwako kkiro ataano ez‘ekigimusa kya urea oluvannyuma lwa wiiki ttaano nga okusimba kuwedde. Teekamu ebigimusa eby‘ennyongereza singa amagoba ageeyongeddeko nga gavudde ku kweyongera kw‘amakungula gasinga ebbeeyi y‘ekigimusa.
Okusimba n‘okuteekamu ebigimusa
Bw‘osimba muwogo wo ku ntuumo z‘ettaka, kola entuumo nga zeesudde mmita emu okuva ku ndala. Simba kasooli ne muwogo mu kiseera kyekimu nga emiti gya muwogo gyesimbye oba nga gyewunzise. Muwogo asimbibwa mu bbanga lya ssentimmita kkumi na ttaano okuva ku muwogo ettaka bwe liba lituumiddwa wamu, naye ettaka bwe liba terituumiddwa wamu, kasooli musimbe wakati mu nnyiriri za muwogo.
Ekigimusa NPK kirina okuteekebw a mu kinnya kya ssentimmita ttaano okumpi ne kasooli oluvannyuma lw‘okusimba kasooli. Mu wiiki ssatu nga okusimba kuwedde, sima ensalosalo entono ate ennyimpi nga ziri mu buwanvu bwa ssentimmita amakumi abiri okuva kasooli w‘ali era oteeke ekigimusa kya urea mu lusalosalo olwo, olwo oteekemu ensawo endala ey‘ekigimusa kya urea oluvannyuma lwa wiiki ttaano.
Ettaka bwe liba ggimu nnyo oba nga oteekateeka kussaamu kigimusa, simba kasooli mu bugulumivu bwa ssentimmita abiri mu ttaano wakati w‘ebimera naye singa ettaka liba n‘obugimu obusaamusaamu, simba nga otobeka ennyiriri mu mabanga ga ssentimmita amakumi ataano.