Olw’okuba nti omutindo n’obungi bw’amakungula agava mu bulunzi bw’ebisolo bwesigama nnyo ku bulamu bwabyo.
Okusobola okutegeera nti eddagala linno likoze bulungi osinziira nkukwatagana y’ebisolo n’eddagala ,enkwata ennungi, n’enkozesa yalyo.Eddagala erigema erikoleddwa mu kawuka akafudde baliteeka mu kaccupa okusinziira ku kipimo kya doozi eyetaagibwa.
Enkozesa yeddagala erigema.
Okusookera ddala eddagala erikolebwa mu kawuka akafudde likozesebwa wo kuba teryetaaga kutabula era mukulitereka, likuumibwa okuva eri ebbugumu eringi,ekitangaala okuva eri omusana ,n’okuva eri ebunnyogovu obuyitiridde obulimu ne bbalaafu.
Litereke mu kyuma ekinnyogoza kubunnyogovu bwa kipimo kya 35 ku 40 (degrees fahrenheit) era mu kiseera ky’okulikozesa empiso ekozesebwa mu kugema mu nnimiro gitereke mu kyuma ekiweweeza ekiziba ekitangaala okuva mu musanna era okikuume okuva eri obunnyogovu n’ebbugumu erisusse.
Mukugattako,wewale okugema ente nga mbisi oba ng’eddugala era mu kiseera nga tonagema,akaccuppa k’eddagala ka nnyennye mpolampola era oketooloze okusobola okutabula bulungi eddagala ly’okugema.Ng’okozesa omukono ogumu okusobola okuwunzika akaccuppa,kwata empiso era ogiyise mu kasanikira ka kaccuppa omuli eddagala.
Omukono ogusigadde gukozese okuteekamu ekipimo ky’eddagala kyoyagala era wolifuna ,empiso gigye mu kaccuppa era ogyemu omuka okuvva mu mpiso kubanga gwabulabe eri ebisolo era guyinza okukozesa ekipimo ekitali kituufu.Okukozesa ekigema ekisobola okubaamu doozi eziwera ,kyetaagisa okupima ekipimo ekituufu eky’eddagala erya buli nsolo zisobole okufuna eddagala etuufu.
Mungeri yemu ensolo zitangire okutambulatambula okusobola okukendeeza ku ntabula yaazo,empiso okummenyeka n’okuzikuuma nga namu.Mukulonda ekiffo aw’okugemera,wekuumire wansi wamagumba g’okumukono ku kibegabega eky’omumaaso wegagatira ku mugongo erawewale ekitundu awabeera obutafaali obuyamba ensolo okulwannyisa ebirwadde.Kakkasa nti ekiffo kiyonjo era nga tekiriimu kasasiro.
Mu kukuba ebisolo eddagala ng’oluyisa mu mpiso ekubwa ku lususu,londa empiso empya ngatetalaga osike ensingo y’ente wabweru osobole okufuna ekifo wofumita empiso wansinsi era okakkase nti empiso tetuuka ku misuwa.Fumita mu eddagala ,gyamu empiso era olususu olute.Okugema wekugwa,empiso gyoze ng’okozesa amazzi amafumbe era tokozesa ddagala lyona eritta obuwuka.
Mu kukomekereza,mukukozesa empiso esobbola okugendamu doozi eziwera,Kozesanga eddagala lyerimu buli wogikozesa era okusobola okufuna amawulire amalungi agava mu kugema ,eddagala erigema erikolebwa mu kawuka akafudde lirina okozesebwa lyonna singa liba lisumuluddwa.Empiso z’okozeseza zisuule awantu awatuufu ng’ogoberera amateeka.