Okulima enva endirwa mulimu ogufunisa amagoba n‘okuyingiza ensimbi okumala omwaka gwonna.
Obwetavu bw‘enva endirwa bungi nnyo kuba abantu bangi bazettanira nnyo okuzirya buli lunaku kubanga zirimu eekiriisa kya vitamin n‘ebirungo. Enva endirwa ezisinga okuliibwa mulimu; ensujju, ennyanya,kamulaali, okra, carrots,emboga n‘endala.
Okutandiika omulimu gw‘okulima enva endirwa.
Nga tonatandiika mulimu gwa kulima nva ndirwa, fuba okulaba nga onoonya akatale n‘ekika ky‘enva endirwa kyonoosimba kubanga ezimu teziwangaala noolwekyo kikwetaagisa okunoonyereza n‘okufuna akatale nga tonatandiika kusimba. Obutale obwamaanyi mulimu; zisemadduuka, bakitunzi, abatunzi b‘omadduuka, bakayungirizi , abasunsuzi, nabazifulumya wabweru w‘ensi.
Omutindo n‘ekika ekiba kirondeddwa kikuyamba okunoonya ekifo ekituufu aw‘okulimira. Ebika ebisinga byetaagisa amazzi mangi noolwekyo olina okulonda ekifo ekirinaanye amazzi. Okwongerezaako olina okuba nga omanyi bino wammanga; ekika ky‘ettaka, obungi bwa mazzi mu ttaka n‘omutindo, obusoobozi bw‘okukuuma amazzi mu ttaka, ob‘amazzi gayita mu ttaka, obwangu mu kufuna akatale n‘ebirala.
Ebikolebwa mu kulima
Enva endirwa zisobola okulimwa awantu awafunda, ku ttaka etono oba ne ddene.
Okufukirira kusobola okukolebwa n‘emikono oba nga weyambisa okufukirira kwa matondo.
Weeyambise ebigimusa ebitalimu ddagala nga kalimbwe oba obusa ono amanyikiddwa mu kwongera ku makungula.
Ebisoomooza.
Enva endirwa ezirimwa nga zakutunda ziba n‘okusoomooza nti waliwo weziba ennyingi ku katale nga zikulidde kumu era neziretebwa ku katale mu budde bwe bumu abalimi ab‘enjawulo. Kino kiviirako emiwendo gyabyo okugwa n‘okubulwa akatale.
Kozesa eddagala erifuuyira okuziyiza ebitonde ebyonoona ebirime naye kozesa eryo erirambikiddwa nga terina bulabe eri obulamu bwa bantu n‘obutonde .