»Ennima y‘ebijanjaalo eroongooseddwamu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://sawbo-animations.org/653

Ebbanga: 

00:07:25

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO™ Scientific Animations Without Borders
»Ebijanjaalo ebya bulijjo bikulu nnyo mu kuwa emmere n‘ensimbi eri abalimi ne famire. Mu kukola ennoongoosereza mu nnima y‘ebijanjaalo ne nkola z‘okusimba osobola okuba n‘ebijanjaalo bingi eby‘okulya n‘okutunda. Akatambi kano kakulaga emitendera egy‘okukola okukola ennongoosereza mu nnima yo ey‘ebijanjaalo.«

Engeri gye biwa ekiriisa ekizimba omubiri, ennima y‘ebijanjaalo ekendedde olw‘ouba ensigo ezimu zibeera n‘omutindo gwa wansi n‘ensonga endala. Wabula enkola ezirongooseddwamu zireeteddwa okukola ku bwetaavu bw‘abaguzi mu butale.

Ebijanjaalo biwa emmere n‘ensimbi eri abalimi. Kozesa ensigo z‘omutindo ezikakasiddwa, simba mu nnyiriri, kozesa ebigimusa ebiva mu kalimbwe n‘ebigimusa bwe bibaawo era oggyemu omuddo mu bimera buli lukya.

Okusimba mu nnyiriri kisobozesa ebijanjaalo okufuna ebiriisa, amazzi era oyongere ku makungula. Era kikendeeza ku budde kubanga okukungula n‘okulwanyisa endwadde kwanguwa. Tegeka ennimiro ng‘ogiroongoosa, okukabala n‘okugiseeteeza. Kola ennyiriri ku bugulumu bw‘ettaka okukendeeza mukoka w‘ettaka.

Okukola ennyiriri

Kozesa obuti obugumu bubiri n‘akaguwa akawanvu kamu. Siba akaguwa ku buti, busimbe bunywere mu ttaka. Lima ekinnya oba olukonko lwa sentimita ssatu ku nnya mu kukka.

Teeka olunyiriri oluddako ku sentimita 50 okuva ku ndala era olekewo ebbanga erimala ery‘okutabika ebirime.

 

Okuteekamu ebigimusa

Fuuyira ekipimo ekigere eky‘omugatte gw‘ebigimusa eby‘obutonde n‘ebikolerere ku mabbali g‘ekinnya era obikkeko ettaka ettonotono.

Teeka ensigo ku buli luvannyuma sentimita ttaano ne sentimita kkumi na ttaano okukka okusinziira ku bunene bw‘ensigo.

Ggyamu omuddo emirundi esatu buli luvannyuma lwa wiiki bbiri ng‘onsimbye.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:27Ebijanjaalo biwa emmere n‘ensimbi eri abalimi.
00:2800:54Okwongera ku nnima y‘ebijanjaalo, kozesa ensigo ez‘omutindo, simba mu nnyiriri era okuule omuddo.
00:5501:19Kozesa ensigo z‘omutindo ezikakasiddwa.
01:2001:41Okusimba mu nnyiriri kwongera ku nfuna y‘ebiriisa, amazzi, ekitangaala n‘okukendeeza ku budde obukozesebwa.
01:0001:53Tegeka ennimiro era okole ennyiriri.
01:5404:03Kozesa obuti obugumu bubiri n‘akaguwa okukola ennyiriri za sentimita 50 okuva ku zinnaazo.
04:0404:46Kozesa omugatte gw‘ebigimusa eby‘obutonde n‘ebikolerere mu nnimiro.
04:4705:32Teeka ensigo ku buli luvannyuma lwa sentimita kkumi, bikkako era oggyemu omuddo mu nnimiro emirundi esatu buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.
05:3307:25Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *