Obujanjaalo obuyitibwa moong dal oba abasinga bwe bayita green gram kirime kya mugaso nnyo ekigwa mu lubu oluyitibwa fabaceae.Buyindi yekyasinze okubuyiingiza,okubulima n’okubulya.
Mu Buyindi barima obujanjaalo bunno ngabasaamu kitono n’olwekyo kinno kifuula ennima yaabwo okuba eyalayisi wogeregannya n’okulunda ebisolo.Ku bujanjaalo bwonna obulimibwa,green gram bwe businga okubaamu ekiriisa ekiziimba eky’amaanyi nga kiri ku mutindo nga kyangu okubwa mu lubutto ate era kiriibwa kyonna awatali kweronda.Ekikka ky’obujanjaalo bunno ekiyitibwa SSL 1827 kyiva mu kugatta nsigo z’omuceere ne green gram.Ekikka kinno tekikwatibwa bulwadde obuleetebwa akawuka akayitibwa yellow mosaic virus.Ebika ebirala mulimu ML 20056, SML 832, ne DMB 37.
Embeera y’obudde eyetaagibwa
Embeera y’obudde n’endabirira y’ettaka mu kulima obujanjaalo bunno yesigamizibwa ku nsonga nti obujanjaalo bunno kituufu bukulira mu kipimo ky’obuwanvu bwa 0-1600m ne mu bbugumu lwa kipimo kya 20-30 degrees.
Obujanjaalo bwa green gram bukula bulungi ku ttaka ery’okungulu erimyukirivu nga lirimu olusennyo wabula era busobola okula obulungi ku ttaka ly’omusennyu wabula nga si mungi nnyo .
Obujanjaalo bunnno tebusobola kula bulungi ku ttaka eriregama amazzi. Obujanjaalo bunno busobola okulimibwa ku kibangirizi ky’ettaka ekinnene era obulimibwa ku ttaka erisobola okuyitamu amazzi ery’okungulu.
Endabirira y’ettaka
Ekipimo ky’olunnyo mu ttaka kirina okuba ku kipimo kya 6.5 ku 7.5.Ettaka okulimibwa obujanjaalo lirirna okusibwamu ebigimusa ku mutendera gw’okuliteekateeka kubanga emmerusizo teyeetagibwa.
Obujanjaalo obuyitibwa moong dal bulimibwa ku ttaka eriwaanvu.Era okuyiikuula ettaka kuyamba ku kutabula ebigimusa ne nnakavundira mu ttaka.Kuziyiza omuddo ogw’onoona ebirime okummera era kuyamba ku mmeruka y’ensigo awamu n’okuziyiza okulukuta kw’ettaka awamu n’okukuuma obuweweevu bw’ettaka.
Okwewala ebitonde ebyonoona ebirime
Ekitonde ekisinga okwonoona obujanjaalo bunno bw’ebusowera obuyitibwa stem flies ,bunno bukosa ebirime nga bikyali bitto nga bibiretera okukala awamu n’okuwottoka.
Binno bisobola okwewalwa nga tufuuyira nga tukozesa eddagala eritta ebiwuka eriyitibwa neem oil.
Era osobola okubyewala ng’okozesa enkola ey’obutonde olwo nga weyambisa engalo oba ng’okozesa enkola ey’okwesigama ku ngeri enzaliranwa ,ez’obutonde n’eza sayansi .
Kungula obujanjaalo bunno ng’ekitundu ky’ekirime ekiwanirira obujanjaalo kikuze ku kipimo kya 85% era osobola okozesa engalo era okukungule mu buli wiiki.