Ensigo za ddoodo byebimu kubiva mubirime era nga kyattunzi naye ebisaanyi bifuula okulima okuba okuzibu ennyo. Ennumba zisobola okuyamba okusanyaawo obsaanyi era n‘olwekyo ziyamba okuuna amakungula amasuffu. Abalimi bangi mu Bolivia batandise olima ennimiro ennene ezaddodo omulundi ogusoose. Olwokuba nti ddoodo afuuse kirime kyatunzi. naye okuva ebimera nga omuddo byebyasooka okusaanyizibwaawo,. Ebisaanyi ebiri mu kulya ebikoola nensigo zaddoodo bifuuse ekizibu ekyamaanyi.
Ennumba ezomuttaka
Ennumba ezimu ennene ziyigga ebisaanyi. Ennumba ezomuttaka zitera okujja mu budde bwomusana. Zitera kunuuna omubisi okuva mu bimuli byawaka nebyomunsiko ne mumuddo. Ebisu(ebiyumba) byazo biba 3 ku 7 sentimita okukka wansi-muttaka. Ennumba zirina okuliisa ebyana kyennumba kyaluka nekirya ekisaanyi. Olwo ekyana kizimba ekiyumba (cacoon) wekiwummula mubudde bwobutiti.
Mubudde Bwekikome nemumusana ennumba nnyingi zaaluka okuva mumagi(cacoon) neziddamu okutambula nate. N‘olwekyo engeri ebisaanyi gyebiri nti byebibezaawo ennumba, zibiyigga nnyo olwo ddodo ziba zimutaasa.
Ebiwuka ebyomugaso
Wewale okukozesa eddagala eryobutwa kuba litta ebiwuka ebyomugaso. Ennumba yeetaaga ebimuli nga tennaba kubiika magi kuba mu bimuli muno mwejja omubisi. Nabwekityo weetaga okwetolooza ennimiro ebirime ebinansi okuwa ebiwuka amaka n‘emmere. Mukiseera kyekimu bwokola kino otaasa okukulugguka kwetta okuletebwa embuyaga n‘emukoka.